NIRA yaakawandiika abantu obukadde 2 n'ekitundu abaagala okuzza obuggya densite zaabwe

Mu ngeri y'emu era abantu 10,518, be baakajjuza ffoomu ng'ebigambo ebissiddwako bya bulimba nga n'ebirala, tebikwatagana era ne bagaanibwa okubakolako.

NIRA yaakawandiika abantu obukadde 2 n'ekitundu abaagala okuzza obuggya densite zaabwe
By Godfrey Kigobero
Journalists @New Vision
#Densite #Bukadde 3 #Bukadde #NIRA #Kuwandiika

ABANTU obukadde bubiri n'ekitundu, be baakeewandiisa eri ekitongole kya NIRA, mu kuzza obuggya endagamuntu zaabwe.

Mu ngeri y'emu era abantu 10,518, be baakajjuza ffoomu ng'ebigambo ebissiddwako bya bulimba nga n'ebirala, tebikwatagana era ne bagaanibwa okubakolako.

Registrar akulira eby'endagamuntu mu kitongole kino, Clare Olama, ategeezezza nti bangi bajjumbidde okuzza obujja endagamuntu kyokka n'asaba abazadde okugenda n'abaana baabwe abatannaweza myaka 18 okubayambako okwewandiisa bafune NIN nnamba.

Agasseeko nti mu kuzza obuggya endagamuntu, abantu tebasaanye ate kukyusa bibakwatako okuggyako nga bamaze kuyita mu mitendera egikkirizibwa obulungi.

Asabye abantu, okumanya ebikwata ku ffamire mwe bava ku njuyi zombi olwa taata ne Maama, okusobola okwanguyiza abali ku mulimu guno n'okulokola obudde eri abalala.