EKITONGOLE kya NIRA kikyusizza ebifo mwe babadde bakolera emirimu olw'ebimu ku bifo ebyo okubeera nga bagenda kubironderamu.
Babadde bakolera mu bifo ku miruka kyokka nga kati bazzeeyo mu ofiisi zaabwe ez'enjawulo era nga baatandise ku Lwomukaaga.
Bannanyonnyodde nti okukimayo endagamuntu , abantu balina kugenda ku ggombolola olwaleero n'enkya kyokka nga baakuwummula okuva nga Jan 14 okutuusa nga Jan 17.
Ate era nga Jan 22 , Jan 27 ne Feb 04 , bajja kuba tebakola okusinziira ku Registrar akulira eby'endagamuntu mu kitongole kino, Claire Ollama,
Agasseeko nti abo bonna abali mu Kampala Central, endagamuntu zaabwe baakuzifunira ku Lumumba Avenue wokka, ab'e Wakiso bagende ku Uganda Martyrs Catholic Shrine e Namugongo.
E Kireka ku Rehabilitation centre ,ku Klezia ya St. Bruno e Najjeera, Sana Jnr School e Kakajjo , e Kasangati ku ofiisi za NIRA e Masooli e Kiteetikka n'awalala.