Amawulire

Charles Matovu awakanyiza ebyava mu kalulu ka Busiro South n'awera okulwanirira obuwanguzi bwe

OMUBAKA wa Busiro South mu Parliament Charles Matovu akakasizza okulwanira obuwanguzi bwe  oluvanyuma lwa Kenan Opio owa NRM okulangirirwa ku kifo kino    Charles Matovu awakanyiza ebyava mu kalulu ka Busiro South n'awera okulwanirira obuwanguzi bwe 

Charles Matovu awera okulwanirira obuwanguzi bwe
By: Godfrey Ssempijja, Journalists @New Vision

OMUBAKA wa Busiro South mu Parliament Charles Matovu akakasizza okulwanira obuwanguzi bwe  oluvanyuma lwa Kenan Opio owa NRM okulangirirwa ku kifo kino .

Charles Matovu omubaka  okuva mu NUP yafuna obululu 26475    , Kenan Opio ayalangiridwa okuva mu NRM yafuna obululu 33812 kenan  kyagamba nti obululu buno si butuufu . 

Ono agambye nti akalulu kano tekabadde kabwenkanya kubanga mubademu emivuyo mingi okuli okulonda emirundi emingi , okuwamba abakikirira ababaka mu kukuuma obululu ne bintu ebirala bingi .

Matovu asinzidde wano n'agamba nti akyayogerako ne bapuliida be okumuwa amagezi ku  kiki kyebagenda okukola kubanga tayinza kusirika nga tavuddeeyo kubanja kalulu ka Busiro South wamu naka Robert Kyagulanyi Sentamu .

Ayongedeko nti alina DR forms zonna eziraga nti  yawangula akalulu naye yewunya okuba nga balangiriramu omuntu mulala ate abamu ku bantu be abaali bakuuma akalulu ka NUP bawambibwa kwosa nokutwala emmotooka yaabwe ekika kya Harrier Number UBH 312 N . okutuusa kati telabwaako n'asaba abagitwaala ogikomyaawo kubanga telina musango

Tags: