'Mwettanire okulima emmere eriimu ebiriisa'

OMUBAKA omukazi akiikirira disitulikiti y’e Kiboga mu palamenti Christine Nakimwero Kaaya akubirizza abantu b'e Kiboga okwettanira okulima emmere erimu ebiriisa ebizimba emibiri.

'Mwettanire okulima emmere eriimu ebiriisa'
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision
#Amawulire

Omubaka Nakimwero ne Lubega nga basomesa abalimi be kiboga ku malagala g as kipapaali)

Bino abyogeredde ku kyalo Bukomero A mu Bukomero Town Council mu disitulikiti y’e Kiboga bw’abadde atongoza ennimiro z'endokwa z'amalagala ga lumonde wa kipaapaali.

Nakimwero yategeezezza nti ennimiro zino zigenda kuteekebwa mu bitundu eby'enjawulo okwetooloola disitulikiti yonna okutandika n'ebitundu nga Bukomero Town council, eggombolola y’e Bukomero, Lwamata Town Council n’eggombolola y’e Lwamata nga zino zaakukozesebwa ng'ebimererezo z'ensigo y’amalagala egenda okuweebwa abalimi mu bitundu eby'enjawulo ku bwereere.

Yayongeddeko nti lumonde ono alimu ebirungo bya vitamin C era waakuyamba ku byendya y'abaana abato, abakyala b'embuto, n'okuwa abantu emirimu olw'ebintu eby'enjawulo ebimuvaamu okuli obuwunga, kkeeki,enva n'ebirala.

Mu nteekateeka eno ey'emyaka etaano Nakimwero agamba nti ayagala buli maka mu disitulikiti eno okubeera n'omusiri gwa lumonde ekika kino.

John Hope Lubega omukwanaganya w'emirimu mu kibiina kya Jomozi Farmer's Supply abavunaanyizibwa ku kubunyisa ensigo y'amalagala gano mu ggwanga eyakulembeddemu okusomesa abantu ategeezezza nti lumonde ono alimu ebika eby'enjawulo okuli Naspot8, 12,13,Naro Naspot8 1 ne Ejumula era ng'ono akyusa mundabika y'ekikuta n'enkula y’amalagala.

Alambuludde ebirina okugobererwa ng'oteteekateeka emirerezo n'ennimiro, amalagala gaggyibwako ebikoola nga kino kigayamba okusibuka n'amaanyi, ebikata bitemebwa mu mabanga ga ffuuti 3 ku 3 ate osimba olulagala lumu mu bbanga lya ffuuti emu.

Ensigo entandikwa okukungulwa oluvannyuma lw'emyezi ebiri ate nga lumonde akulira ku myezi esatu.

Lubega agamba nti okwawukanako n'ebika bya lumonde ebirala ono abala nnyo ate ng'alimu emigaso mingi n’okugumira embeera y'obudde.

Yakubirizza bannakiboga okukozesa omukisa guno okwettanira okulima lumonde ono kibayambe okugoba enjala mu maka gaabwe n'obwavu kubanga oluvannyuma lw'emyezi ebbiri otandikirawo okufuna ssente.