BWE baalabye nga ffamire ya muwala w’eyali Katikkiro wa Buganda, Ying. John Baptist Walusimbi, ebakandaaliriza ku by’okubasindikira ssente, abaawambye n’okutta Lydia Babirye Ssengendo, 52, baayiiyizza akakodyo k’okusindika ekifaananyi kye.
Baamusibye ebigoye mu kamwa okwongera okubakakasa nti, kye baabadde boogerako bakitegeeza.
Ekifaananyi baakisindikidde muwalawe, LeylaNakisinde era olwakakasizza nti ye muntu waabwe gwe banoonya, baasattidde. Baatandise okunoonya ssente ezaabasabiddwa baziweeyo bataase omuntu waabwe. Abubakar Ntege ne Shafiq Kagga be bamu
ku bateeberezebwa okwenyigira mu ttemu lino.
SHAFIQ KAGGA YE ANI?

Poliisi teyamatidde na kwewozaako kwa Ntege olw’engeri ekifaananyi ky’omugenzi bwe kyabadde kifaanana. Amangu ddala ate Ntege yattottodde engeri gye baakozesa ekifaananyi okufuna ssente eziwerako okuva mu ba ffamire y’omugenzi. Agamba nti, okubasindikira ssente akakadde azaasooka, baakiraba ng’okubayisaamu amaaso kwe kusalawo ne basindika ekifaananyi ng’omugenzi bamusibye ebigoye mu kamwa. Ntege, agambye nti kino kyabakolera kuba oluvanyuma aba ffamire baatandika okubasindikira ssente eziwera okwali 3,000,000/- n’’endala 4,000,000/- okuweza 8,000,000/- ku 19 ze baabadde basabye.
Ensonda mu Poliisi zaategeezezza Bukedde nti oluvannyuma lw’okukkiriza omusango gw’okuwamba n’okutta omugenzi, Ntege ne Kagga baatwaliddwa mu kkooti ne bakuba ebirayiro ku bujulizi bwe beewaddeko. Basuubirwa okutwalibwa mu kkooti enkya (Lwakusatu) nga June, 10,2026 bavunaanibwe mu butongole emisango egiri ku ffayiro CRB: 607/2026, ku Poliisi ya Kampala Mukadde.
OKUZIIKA OMUGENZI
Sheeba Nazzibwa, omu ku ba ffamire yategeezezza nti leero lwe baziika ku bijja bya bajjajjaabe e Bakka mu disitulikiti y’e Wakiso.