Amawulire

Muvubeeyo ennaku bbiri muzze abaana ku masomero - Amagye

Omuduumizi w’eggye erirwanyisa envuba embi, Col. Mercy Tukahirwa awadde abavubi ba mukene abaali bayimirizibwa nga bakozesa enkola eya Hurry-up ennaku bbiri okusobola okuvuba bazze abaana baabwe ku masomero.

Muvubeeyo ennaku bbiri muzze abaana ku masomero - Amagye
By: Samuel Nkuba, Journalists @New Vision

Omuduumizi w’eggye erirwanyisa envuba embi, Col. Mercy Tukahirwa awadde abavubi ba mukene abaali baayimirizibwa  ennaku bbiri okuvuba bazze abaana baabwe ku masomero.

Zino azibawadde bw’abadde abasisinkanye mu bizinga by’e Ssese ku myalo okuli Kacanga mu ggombolola y’e Bufumira n’e Lwazi – Bubeke mu ggombolola y’e Bubeke.

Col. Mercy Ng'awayaamu Ne Bambalazaabwe Ssemakula Ku Nsonga Z'abavubi Ba Mukene.

Col. Mercy Ng'awayaamu Ne Bambalazaabwe Ssemakula Ku Nsonga Z'abavubi Ba Mukene.

Mercy agamba nti waliwo abantu ab’olubatu abaagala okwezza ennyanja ebeere mu mikono gyabwe nga bayita mu kujingajinga ebiboozi basobole okugobesa abalala mu mulimu guno.

“Ennyanja yaffe ffena kubanga Katonda ye yajituwa era tulina okujiganyurwamu nga abamukene, empuuta, enkejje, engege n’abavuba ebyennyanja ebirala,” Tukahirwa bw’agamba.

Ono era abakuutidde okwewala eby’obufuzi bye batabiikiriza mu mulimu gwabwe ekireetedde abamu okwagala okwetemaatema.

Ayongeddeko nti ennaku ebbiri zino ezibaweereddwa be balina okuzironda kubanga ekiseera kino kyanjako nga mukene tayinza kuvubibwa.

Mu kusooka waabaddewo okusomesa abavubi ku bitimba ebikkirizibwa n’amateeka agalina okugobererwa nga bagenda okuvuba omuli okutega mu kkiromita bbiri okuva mu mwalo, okukozesa ebitimba ebituufu kw’ossa obutateekamu empuuta nto.

 

Abavubi basanyukidde ekiragiro kino era ne basuubiza nga bwe bagenda okusala empenda okusobola okukuuma ennyanja nga tesaanyiziddwawo.

“Tusaba wateekebwewo ensawo ey’enjawulo nga twewolamu nga abavubi ne tugula ebivubisibwa ebituufu okusinga we tunaggweera mu bikyamu ennyanja n’etugisaanyaawo,” Abavubi bwe bagamba.

Bano baakinogaanyizza nga bwe batalina lutalo lwonna ku bavubi balala wabula nga nabo tebamanyi lwaki bagobaganyizibwa nga abagwira mu mulimu gwabwe gwe bamazeemu ebbanga.

Omu ku bamyuka ba baka ba Pulezidenti atwala ebizinga by’e Kyamuswa Henry Lubulwa asinzidde eno n’abasaba okukuuma amateeka agabaweereddwa.

Tags:
Amagye
Kuvuba
Masomero