PULEZIDENTI Museveni ayimirizza okutuda Pearl of Africa Hotel eyali eyitibwa AYA Hotel, asooke asisinkane abaaweebwa ogw’okugitunda nti kuba Gavumenti yassaamu ssente nnyingi okugizimba.
Mu bbaluwa Pulezidenti gye yawaddeko ofiisi y’akulira abalamuzi, Dr. Flavian Zeija era n’eweebwako aba kkampuni ya Armstrong Limited n’aba AYA Investments, yawandiise nti yakitegeddeko nti aba Industrial Development Corporation of South Africa ababanja AYA baawangula emisango gyonna mu kkooti.
Yagambye nti okusinziira ku ssente ezaateekebwa mu Pearl of Africa Hotel, okwali n’ezaava mu Gavumenti n’okuwaayo ettaka kwe yazimbibwa, n’ebirala, Gavumenti eyagala esisinkane ababanja AYA balabe engeri gye bayinza okusasula ebbanja eryo, wooteeri ereme kutundibwa.
Pearl of Africa okutundibwa, kyaddirira ebbanja lya buwumbi 316, nnannyini yo, Muhamad Hamid ze yeewola okuva ku kkampuni ya Industrial Development Corporation of South Africa nga ssente zaali zaakuzimba n’okuddaabiriza wooteeri eno.
Wooteeri eno etemagana ng’omuntu esangibwa Nakasero Hill mu Kampala nga baayingiira mu ndagaano n’abawola ssente wakati wa August 2007 ne April 2017 okuzimba wooteeri ggaggadde etudde mu myaliiro 23. Mu kiseera kino, ebbanja lyalinnya nga kati lya buwumbi 647.
AYA yalemwa okusasula n’okutuukiriza endagaano ze baakola, abaawola kwe kuddukira mu kkooti eyalagira wooteeri etundibwe ku nnyondo.
Pulezidenti Museveni yalagidde okutunda wooteeri eno kuyimirizibwe, asisinkane ababanja era n’alagira omuwandiisi we ow’ekyama okutegeka ensisinkano eno amangu ddala