Ambasada wa Austria alaze obwennyamivu olw'emiwendo gy'abaana abawala abakukusibwa ne batwalibbwa mu mawanga g'ebgweru

Ambasada wa Austria alaze obwennyamivu olw'emiwendo gy'abaana abawala abakukusibwa ne batwalibbwa mu mawanga g'ebgweru

Ambasada ng'atongoza ekitabo
By Wasswa Ssentongo
Journalists @New Vision
AMBASADDA wa Austria mu Uganda Dr. Katja Yvonne Kesrchabaumer alaze okutya ku ngeri omuwendo gwa bawala abakukusibwa mu mawanga ne batwalibwa okukuba ekyeyo abamu ne balufiramu.
 
ono otegeezezza nti Gavumenti ekyalina omulimu munene okulwanyisa ekikolwa kino era mukunonyereza kwebakoze bakizudde nga abantu abakukusa abawala bakwatagana nnyo ne poliisi nga abawala bangi batya okugenda ku poliisi.
 
 
Ambasadda Yvonne asinzidde ku ofiisi za John Paul 2 Justice and Peace Centre e Nsambya mu Kampala bwabadde atongoza akatabo akakoleddwa abakungu okuva ku ttendekero lye Makerere oluvanyuma ly’okukola okunonyerezza ku ngeri abaana gyebakukusibwaamu okuva mu mawanga agenjawulo nebatwalibwa okukuba ekyeeyo ekiviriddeko abamu oikufirayo nebazikibwaayo ate abatono ddala nebakomezebwaayo ate abasinga bazadde baabwe nebatamanya wa gyebali.