Amawulire

Omu ku bagambibwa okuba ab'omutawaana mu kutemula n'okutta ababbooda poliisi emukutte!

Kiddiridde obunyazi obwabadde e Ssumbwe mu Wakiso, abantu babiri abeefudde abasaabaze , bwe baapangisizza Equiam Ssessanga okuva e Busega bwe yabadde adda ewuwe e Ssumbwe ekiro.

Omu ku bagambibwa okuba ab'omutawaana mu kutemula n'okutta ababbooda poliisi emukutte!
By: Musasi Bukedde, Journalists @New Vision

Omu ku bantu abagambibwa okuba aboomutawana mu kutemula n'okutta abavuzi ba bodaboda ne bazibabbako, akwatiddwa poliisi.

Kiddiridde obunyazi obwabadde e Ssumbwe mu Wakiso, abantu babiri abeefudde abasaabaze , bwe baapangisizza Equiam Ssessanga okuva e Busega bwe yabadde adda ewuwe e Ssumbwe ekiro.

Bwe baatuuse e Ssumbwe, ne beefuula abaabadde bavaako nti omu kwe kumujjirayo ejjambiya n'amutema ku element  nti oluvannyuma ne babulawo ne pikipiki nnamba UMA 191 DV n'essimu ye.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala, Racheal Kawala, agambye nti , omukwate, baamukukunudde  ku kyalo Kikunyu mu ggombolola y'e Kammengo mu Mpigi nga naye muvuzi wa pikipiki. Agasseeko nti mu kikwekweto kino era , bazaudde essimu ya Ssessanga.

Tags:
Bbooda
Poliisi
Mutawaana