Bya Joseph Makumbi
MUNNAYUGANDA ayagala eky’omubaka mu Amerika alaze olugendo lwe okuva e Uganda okutuuka e Maryland mu America.
Fiona Quincy Bareebe 34, ayagala kukiikirira disitulikiti ttaano (5) mu ssaza ly’e Maryland mu Congress.
Fiona ne kitaawe (kati Omugenzi) Bareebe.
Olugendo lwe okuva e Uganda okutuuka mu America agamba terwali lwangu kyokka mumalirivu nti bw’ayita mu kamyufu k’ekibiina kya DP n’akwata tiketi, ajja kwesogga Congress oba Palamenti ya America.
Mu mboozi ey’akafubo ne Bukedde, Bareebe yagambye nti bamuzaala Kachigani mu Mbarara kyokka yakulira Ntebe. Okuva mu Uganda okugenda mu America, yagendera ku sikaala gye yasaba mu kugezesa emikisa gye.
Agamba kitaawe ye mugenzi Amon Kabareebe Muzoora, eyaliko omubaka wa palamenti akiikirira Rwampara (Muzoora yafa December 15, 2018).
Abaffamire ye baategeeza nti yafa bulwadde bwa mutima. Ono era yaliko amyuka akulira abakozi ku Munisipaali y’e Ntebe.
Bareebe annyonnyola nti nnyina ye Kahunde Abwooli, ono musomesa mutendeke. Ye mwana ow’okuna mu ffamire ya baana 9.
Fiona ng'ali n'egimu ku mikwano gye mu America.
“Neegomba nnyo kitange, yali musajja mukozi, eneeyisa ye n’embeera ze zikoze kinene nnyo mu kuzimba obulamu bwange kubanga namulaba ng’atoba okuyita mu bulamu obwali obuzibu.” Bareebe bwe yagambye.
Bareebe yasomera ku Lakeside Academy e Ntebe, Lake Victoria e Ntebe, siniya yagisomera ku Lake Victoria Academy e Ntebe n’oluvannyuma n’agenda ku Ntinda View College.
“Ebyobufuzi sibitandikidde mu America, nabitandikira mu ssomero kubanga ku Ntinda View, neesimbawo ku kifo kya Head Girl naye nalina eddalu lingi abasomesa ne batanzikiriza era olw’ettuttumu lyange, abaana bannonda ku kya ‘Entertainment prefect’” Bareebe bwe yagambye.
Bwe yava e Ntinda agamba yagenda e Nkumba ku yunivaasite era waali wabula omwezi gumu atikkirwe n’agenda mu Amerika.
“Nnali nnina ebirooto okulaba ku nsi, okufuna emikisa egitali gimu, nali njagala ekintu ekinene okusinga nze naye nga simanyi kiyinza kubeera ki, nagezesa emikisa gyange ne nsaba e Bungereza ne America ne nfuna mu America.” Bareebe bwe yannyonnyodde.
“Mu mutima gwange nalinamu ekintu eking’amba nti nalina okugenda ku ssomero oba ntya oba ntya era nafuna ekifo mu ttendekero ku kitundu kye bayita Quincy College.” Bareebe bwe yayongeddeko.
Yagambye nti yasanga okusoomoozebwa olw’ennono za Uganda ezaawukana n’eza America naye yalina okukakasa nti ayiga ennono z’Abamerika omwali n’okuzzibwa wansi mu kibiina asobole okuyiga okuwandiika n’amannya g’ebintu.
Bareebe yafuna ddiguli mu kubala ebitabo era yasooka kukolera kkampuni ya KPMG kyokka oluvannyuma minisitule y’ebyokwerinda eya America n’emuwa omulimu wadde ng’agamba nti tebyali byangu
Yakolerako n’eddwaliro lya Bon Secours e Maryland Barber ng’omubazi w’ebitabo. Ku ssaawa eno, asoma ddiguli yakubiri era y’omu ku bagenda okutikkirwa mu May w’omwaka guno.
Mukazi mufumbo, bba ye Patrick Ssimbwa, balina abaana basatu, abawala babiri n’omulenzi. Agamba bba mpagi luwaga mu by’obufuzi bye kubanga amuwabula w’aba akoze ensobi ate n’amugumya bw’aba aweddemu amaanyi.
Ali ku lukiiko olufuzi olwa DP
Mu kwetegekera olugendo lwe mu palamenti ya America, Bareebe agamba nti yasooka kufuna kifo ku lukiiko olufuzi olw’ekibiina kya Democratic Party ekya America, yavuganya n’eyali mu kifo kino okumala ebbanga n’amuwangula.
Ku by’obufuzi agattako okukola emirimu emirala esatu okuli ekifo ekirabirira abakadde n’abaliko obulemu kye yatandika ng’ekifo ekiyamba wabula kati alina abakozi 100 n’ebifo 11 mwe bakolera emirimu.
Tiketi ya DP agivuganyaako n’abantu abalala bana okuli abakazi babiri n’omusajja omu kyokka alina essuubi nti bonna abakira olw’obukugu bw’alina mu biruubirirwa bya America n’okutegeera omuntu wa bulijjo.
“Bweseesimbawo essuubi lyaffe lijja kuba lifudde, twetaaga omuntu amanyi kye kitegeeza okutoba wakati w’emirimu esatu n’oteeka emmere ku mmeeza, twetaaga omuntu ategeera kye bayita okubeera maama asobola okulwanirira omwana we, twetaaga omuntu alabye ku mbeera yonna.” Bareebe bwe yagambye.