OKUFA kwa munnabyanjigiriza Monica Samanya Katamba kulese abamumanyi mu kiyongobero.
Monica Serubiri abadde mutuuze ku kyalo Nakyesanja e Kawanda mu ggombolola y’e Nabweru mu Nansana Munisipaali era nga ye yatandika essomero lya St. Paul SSS e Kawanda nga mu kiseera kino liyitibwa SKY Progressive SSS e Kawanda. Serubiri yafiiridde mu ddwaaliro e Mulago ku Lwokutaano bwe yabadde alongoosebwa emisuwa
egitwala omusaayi ku mutima wabula ebyembi n’ayitirayo. Yaziikiddwa wiiki ewedde ku kyalo Nakyesanja e Kawanda wakati mu nnaamungi y’omuntu. Okuziika kwetabiddwaako bannabyabufuzi nga baakulembeddwa meeya wa Nansana Munisipaali, Reginah Bakitte Nakazzi.
Mutabani w’omugenzi, Lawrence Serubiri yategeezezza abakungubazi nti omugenzi abadde alumizibwa mu kifuba era bwe yagenda e Mulago ne bamutegeeza nga bw’alina okulongoosebwa okusobola okuwona. Yagasseeko nti baamutwala mu woodi y’abalwadde b’omutima gye baazuulira nga emisuwa egitwala omusaayi ku mutima giriko amasavu mangi nga balina kumulongoosa gye yafiiridde.
BBA AYOGEDDE KU MUKYALA WE.
Bba w’omugenzi, Paul Serubiri yagambye nti mukyala we abadde muntu wanjawulo eri obulamu bwe nga yabadde mpagi luwaga awaka kuba abadde yeebuzibwaako bingi.
Yagambye nti yasisinkana ne mukyala we kati omugenzi mu mwaka ogwa 1972 bwe baali basoma e Kibuli SSS .
Omugenzi yaliko kansala akiikirira abakyala ku ggombolola y’e Nabweru nga eno gye yafuuka amyuka ssentebe LC 3 ku ggombolola y’e Nbaweru. W’afiiridde ng’abadde kansala w’abakadde ku Nansana Munisipaali era ng’abadde mmemba wa Public Accounts Committee owa disitulikiti ya Wakiso.
Abadde ssentebe wa SACCO y’ekigo kya Jinja Kaloori era y’abadde omuwandiisi w’ekibiina kya Courier Banagye Kawanda Parish. Mu bubaka bwa Bakitte yatenderezza omugenzi nti abadde mukyala omukozi nga ye amumanyidde ebbanga ddene kuba abadde mukyala ayagala ennyo abantu ate ayamba kuba bangi ababadde ku lusegere lwe bingi bye bamulabiddeko