ENFA y’omuzannyi w’erinnya owa ttiimu y’eggwanga eya Rugby erese ebibuuzo olw’akatambi akaafulumye ng’abantu bamukuba emiggo n’ensambaggere ebyamusse mu kavuyo. Sydney Gongodyo, 27, abadde omuyizi w’e Makerere era nga muzannyi wa linnya ku ttiimu y’eggwanga eya Rugby Cranes ssaako ne kiraabu ya Stanbic Black Pirates emu ku zisinga ettutumu mu liigi za Rugby mu ggwanga ye yattiddwa.
Mu kiwandiko ekyafulumiziddwa omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano Rachael Kawala, yalaze nga bwe bakutte abantu basatu bagiyambeko mu kunoonyereza ku nfa ya Gongodyo, nga bano kuliko; Noordin Ssebagala, Roden Ayebazibwe ne Juliet Namukose nga bakuumibwa ku poliisi ya Kira Road.
Ettemu lino lyabaddewo ku Lwokutaano lwa wiiki ewedde ku ssaawa 8:00 ez’emisana e Naguru mu muluka gwa Bukoto 1, mu divisoni y’e Nakawa ekibinja ky’abantu bwe kyakkakkanye ku Gongodyo agambibwa okuba nti, yabadde atambulira ku boda boda ne bamukuba bubi ekyamuviiriddeko okufa.
Wabula kigambibwa nti, owa boda boda eyabadde amuvuga olwalabye ng’embeera eddugadde ne yeemulula n’adduka. Poliisi egamba nti, ekyagenda mu maaso n’okunoonyereza okuzuula ekyaggye abantu mu mbeera ne batuuka okukuba omuntu okutuusa okufa. Kawala yategeezezza nti, abaserikale baabwe baasobodde okudduukirira embeera ne baddusa Gongodyo mu ddwaaliro e Mulago gye yafiiridde ku ssaawa
n 1:00 ey’akawungeezi oluvannyuma lw’okufuna ebiwundu eby’amaanyi.
Embeera yabadde ya kwennyamira olw’engeri Gongodyo gye yafuddemu wakati mu kutwalira amateeka mu ngalo.
ENTEEKATEEKA Z’OKUZIIKA
Eggulo (Ssande) abooluganda n’emikwano baakung’aanidde ku Kings Park Arena e Bweyogerere nga banekedde mu mijoozi gy’omuzannyo gwa Rugby okukungubagira omugenzi, oluvannyuma omulambo gwatwaliddwa mu maka ga bakadde be mu kibuga ky’e Mbale ku Senior
Quarters e Bungokho awaakumiddwa olumbe. Omugenzi waakuziikibwa enkya (Lwokubiri) ku kyalo Bweri mu Town Council y’e Budadiri mu disitulikiti y’e Sironko.