OMUDUUMIZI wa w'eggye ekkesi erya CMI, Col. Kenneth Shillingi, akunze Bannayuganda bonna okusitukiramu ku nsonga ezikwata ku by'okwerinda nga batandikira ddala ku byalo byabwe nga emu ku ngeri ey'okwanguyiza ebitongole ebikuumaddembe okwang'anga abamenyi b'amateeka abeekukuma mu bitundu byabwe.
Bino Col. Kenneth yabyogedde akulembeddemu abajaasi b'eggye lya UPDF okuva mu CMI mu kukola bulungibwansi mu bitundu eby'enjawulo mu Munisipaali y'e Nakawa nga UPDF yeetegekera ebikujjuko bya Tarehesita eby'okubeera e Mbarara olunaku olwa leero era nga Eggye lya UPDF lijaguza emyaka 42 bukyanga litandikibwawo.
Eno Abajaasi ba UPDF, balongoosezza ebifo eby'enjawulo omwabadde eddwaliro lya Kiswa Health Centre 3, akatale k'e Kitintale n'okuyoola kasasiro mu bitudu by'e Kasokoso era nga mu kwogerako eri abatuuze mu bitundu bino Col. Kenneth Shillingi, agambye nga nti UPDF baasazeewo okugenda wansi mu bantu okubajjukiza nti eby'okwerinda byetaaga kukwatira wamu.
Col.Shillingi agambye nti abakulembeze b'ebyalo bateekwa okumanya ebikwata ku bantu abapya abasenze mu bitundu byabwe na biki bye bakola nga wano asabye abantu okulonkooma abantu bonna be baba beekengedde mu bitundu byabwe olwo bo nga abakuumaddembe bakole omulimo gwabwe n'ategeeza nti obubinja bw'abayekera ba ADF busobola bulungi okusaanyizibwawo singa abantu ba wansi bakola obuvunaanyizibwa bwabwe nga bawa abakuumaddembe amawulire agafa mu bitundu byabwe.
Wabula era Col.Shillingi,asinzidde eno n'ategeezezza nti nga UPDF batedde essira ku nsonga z'eby'obulamu nga y'ensonga lwaki baasazeewo okuyonja eddwaliro lya Kiswa Health Centre III ko n'akatale k'e Kitintale olw'obungi bw'abantu abakung'aanira mu bifo bino era nga wano yasomesezza abantu ku bukulu bw'okukuuma obuyonjo mu bitundu gye bawangaalira nga wano yalabudde abantu okukomya omuze gw'okuyiwa kasasiro mu myala n'ategeeza nti buli abantu lwe bayiwa kasisiro mu myala gizibikira olwo kazambi n'akulukutira mu mayumba g'abantu ekintu eky'obulabe ennyo.
Bo abavunaanyizibwa ku kulongoosa eddwaliro lya Kiswa Health Centre III nga bakulembeddwaamu Kibedi Joseph, basiimye UPDF olw'okubalongooseza dddwaliro nga bagamba nti ensonga z'obuyonjo nkulu nnyo .
Olwavudde e Kiswa, beeyongeddeyo ku katale k'e Kitintale ng'eno nayo baagogodde emyala egyabadde gizibikidde.
Ssentebe w'akatale kano, Richard Kiggundu ng'ali wamu n'abasuubuzi baategeezezza Col. Shillingi nti balina okusoomozebwa olw'ekizibu kya Kasasiro ow'okusasulira ekiviirako abasuubuzi abamu okumuyiwa mu myala ne basiima UPDF olw'okubalongooseza akatale kaabwe.