EDDWAALIRO ekkulu ery’e Mulago litandise okusimbuliza ensigo.
Bino byayasanguddwa minisita w’Ebyobulamu, Dr. Jane Ruth Aceng mu lukung’aana lwa bannamawulire olwatudde ku ddwaaliro lino, oluvannyuma lw’okutongoza
enkola eno.
Dr. Aceng yategeezezza nti Mulago buli mwaka ebadde ekola ku balwadde abasukka mu 1,000 nga balina endwadde ezeekuusa ku sukaali n’ensigo ng’abasinga babadde nga baweerezebwa mu nsi ez’ebweru okufuna obujjanjabi.
Kaweefube w’okusimbuliza ensigo baamutandika nga March 15, 2023 era bakyusizza ensigo z’abantu babiri nga bonna balamu oluvannyuma lw’okwekebejjebwa emyezi 4.
Okusimbuliza okusookedde ddala mu East Afrika baakukoze nga bayambibwako abasawo abakugu abaakulembeddwamu Dr. A. Sashi Kiran okuva mu ddwaaliro erya Yashoda mu Buyindi.
Yannyonnyodde nti olw’okubanga okusimbuliza ensigo kya buseeremu, baakusooka kukikolera bwereere nga bwe beetegereza ssente etuufu abantu ze basaana okusasula.
Aceng yalaze nti baagala okusimbuliza ensigo ennamu okuva ku mufu okuzissa mu mulamu.