Abadde mu kigo ky'okufuusibwa kwa Yesu Kristo ekya Anoonya Orthodox Centre ekisangibwa e Degeya mu ggombolola y'e Kalagala mu Luweero mu kujjaguza olunaku lw'ekifo kino era n'abasaba okubeera obumu mu Kristo.
Buli lwa August 6, Eklesia ekuza olunaku lw'okufuusibwa kwa Yesu Kristo bwe yali ku lusozi Tabor bwe yava mu kikulu ky'obuntu naddala mu ky'Obwakatonda.

Fr. Paul Mutaasa Ng'ali N'abasisita
Fr. John Kibuuka Bbosa nga ye Viika w'Eklisia era kabona kw'ekigo ky'e Degeya ategeezezza ng'olunaku luno bwe lusaana okukozesebwa abantu okudda eri Kristo ng'ono yabayamba okuva mu nneeyisa embi ng'obuli bw'enguzi okutandika okukola ebyo ebisiimwa Katonda.
Omubaka w'ekitundu ky'e Bamunanika mu Palamenti, Robert Ssekitoleko asabye abantu okukola have mu kulinda ebisuubizo bya bannabyabufuzi ne Gavumenti wabula bakole ebyo ebisobola okukyusa obulamu bwabwe okuli okussa essira ku bulimi ate n'okukolera awamu ebyo ebitwala ekitundu.

Omubaka Robert Ssekitooleko Ow'e Bamunaanika
Omukolo gwetabiddwako Babisopu okuli; Silvester Kisitu owe Jinja ne Nectarios Kabuye owe Gulu n'abakulembeze abalala mu biti ebyenjawulo.