OMUTEESITEESI omukulu mu ofiisi ya Pulezidenti, Haaj Yunus Kakande alaze Pulezienti Museveni enkulaakulana gyakoze mu Buganda nannyonnyola lwaki abantu mu Buganda balina okumulonda mu kulonda kwa 2026.
Kakande yagambye nti mu myaka gye 70, akawuka akaluma emmwanyi kaalumba Buganda era emwanyi ezisinga nezifa. Kyokka nti Gavumenti ng'eyita mu Operation Welath Creation, baanyonya eddagala era bangi naddala e Masaka bafunye mu kulima emmwanyi. Kakande ng'asinziira mu ggombolola ye Masuliita e Wakiso mukulambula ezimu ku nnimro ez'enjawulo, yagambye nti nabamu bawereddwa endokwa ez'omulembe zebasimbye nebasobola okwejja mubwavu.
Ono era yalaze nti enguudo nnyingi ezikoleddwa okuli olwa Matugga-Kalasa-Mawale-Semuto-Kapeeka-Butalangwa luyiriddwa kkolaasi nga nendala okuli Kakiri- Masuliita, Ssentema-Bukasa-Kakiri nendala nnyingi zigenda kuyibwa kkolaasi.
Yayongedde nalaga nti amakolero mangi agareteddwa mu Buganda agayambye ku bavubuka okufuna emirimu. Amakolero okuli ag'e Kapeeka agakola Tiles, amakolero agayaluza enkoko e Luweero, amakolero agakola ebintu eby'enjawulo e Namanve gonna Pulezidenti Museveni yagareese."Ku luguudo lwa Hoima, amakolero mangi agatandikiddwako, okutuukira ddala e Kiboga, nga gano gonna gawadde abavubuka emirimu, ssaako okukulakulanya ebitundu." Kakande bweyayongeddeko.

Ye ssentebe w'abaana babalwanyi, Muwada Namwanja, yategezezza nti balindiridde Museveni mu ssanyu naddala lwagenda okulabikako mu Wakiso ng'anoonya akalulu.
Yagambye nti basanyufu okuba nga Museveni alina bingi byakoledde Wakiso ne Buganda okutwaliza ewamu, era nti nebyo ebikyagenda mu maaso okukolebwa omuli enguudo, balina essuubi nti bijja kumalirizibwa.