Amawulire

Mufti Galabuzi akuutidde Abasiraamu okwezza obuggya mu kiseera ky'ekisiibo

SUPREME Mufti, Sheikh Muhammad Galabuzi akuutidde abakkiriza bonna okukozesa ekiseera kino ekisigaddeyo okutuuka ku mwezi omutukuvu ogwa Ramadhan okwedaabulula balongoose awo wonna webaasobya basobole okusiiba ekisiibo kyabwe nga kitukuvu era kibabalibweko.

SUPREME Mufti, Sheikh Muhammad Galabuzi ng'ayogera
By: Huzaima Kaweesa, Journalists @New Vision

SUPREME Mufti, Sheikh Muhammad Galabuzi akuutidde abakkiriza bonna okukozesa ekiseera kino ekisigaddeyo okutuuka ku mwezi omutukuvu ogwa Ramadhan okwedaabulula balongoose awo wonna webaasobya basobole okusiiba ekisiibo kyabwe nga kitukuvu era kibabalibweko.

Akulira Vision Group Don Wanyama nga bamukwasa ettu lya Ramathan

Akulira Vision Group Don Wanyama nga bamukwasa ettu lya Ramathan

Bino Galabuzi abyogedde bw’abadde atongoza entekateeka y’Ettu lya Idi ey’Omwezi gwa Ramadhan ku kitebe kya Vision Group nga bali wamu n’abavujjirizizi ab’enjawulo okuli ba Chapa General Enterprises ne B-Clara H Property Services Ltd.
Ategezezza nti kano kekadde buli omu okwekubamu ttooci mu bikolwa bye by’azzenga akola okuva ku Ramadhan ewedde byebiba bikyamu abirongoose era yegayirire nnyo Allah asobole okumuyisa mu eno nga mulamu bulungi.

Supreme Mufti Galabuzi (owokubiri ku kkono) nga akwasa Omukunganya w'olupapula lwa Bukedde Micheal Mukasa Ssebbowa (owokubiri ku ddyo) Ettu lya Ramadhan

Supreme Mufti Galabuzi (owokubiri ku kkono) nga akwasa Omukunganya w'olupapula lwa Bukedde Micheal Mukasa Ssebbowa (owokubiri ku ddyo) Ettu lya Ramadhan

Ayozayozezza Vision Group olw’ebanga ery’emyaka 40 nga eri mu buweereza n’asaba Allah ayongere okubasobozesa okutuuka ku biruubirirwa byabwe n’asaba n’abantu abalala abalina obusobozi okuvaayo bawagire entekateeka nga zino.
Akulira Kampuni ya Vision Group Don Innocent Wanyama asiimye nnyo Mufti Galabuzi n’abavujjirizi bonna olw’obuteeganya nebakkirizanga okutambula naffe muntekateeka zonna n’asuubiza okwongera amaanyi mu buweereza.

Supreme Mufti Galabuzi (owokubiri ku kkono) nga akwasa Maneja wa Bukedde Fa Ma Ronald Ssebutiko Ettu lya Ramadhan

Supreme Mufti Galabuzi (owokubiri ku kkono) nga akwasa Maneja wa Bukedde Fa Ma Ronald Ssebutiko Ettu lya Ramadhan

Ategezezza nti mu banga ery’emyaka 40 mu buweereza Vision Group esobodde okuzaala obuweereza obw’enjawulo okuli zi T.v, Lediyo kw’ossa n’empapula endala kyokka n’asaba abantu okwekubamu ttooci mu kisiibo kino balongoose.
Asiimye nnyo bonna abazze batambula nabo n’ategeeza nti okuva entekateeka eno lweyatandika basobodde okutwala abasiraamu 12 ku Umrah kw’ossa n’okugaba ebyapa nga eky’omulundi guno kyapa kyakuna.
Hajji Yasin Kazibwe okuva mu Chapa General Enterprises abakola ne Prestige yeyamye okwongera obuvujjirizi muntekateeka y’ekisiibo nga bayita mu mikutu gya  Vision Group egy’enjawulo eya Ddaaku, Tukyogereko, Hadith y’olunaku, Athan ku radio ne T.v ya Bukedde nga muno mulimu n’okuddanmu ebibuuzo mu ebyo ebinabanga bisomeseddwa era abawanguzi 75 bebajja okwewangulira ebirabo.

Supreme Mufti Galabuzi (owokubiri ku kkono) nga akawasa Ssalongo Richard Kayiira Ettu lya Ramadhan.

Supreme Mufti Galabuzi (owokubiri ku kkono) nga akawasa Ssalongo Richard Kayiira Ettu lya Ramadhan.

Herbert Ssenyonga okuva mu Kampuni ya B-Clara H Property Services Ltd ategezezza nti ne ku mulundi guno bataddewo ekyapa ku Estate ye Mpigi ekigenda okuwangulwa nga bwebaakola mu kisiibo ekiwedde Ismail Matovu bweyakiwangula.
Asiimye nnyo kampuni ya Vision Group okutambula nabo obulungi nga kino kyabasobozesezza n’okugaziwa nebafuna ekifo ekipya e Kabuusu nga balina entekateeka mu banga lya mwezi guno okusenguka okuva mu matabi gabwe ag’enjawulo okuli erye Kyengera ne ku E-Tower mu Kampala abonna bade mukifo kino ekipya.

Supreme Mufti Galabuzi (owokubiri ku kkono) nga akwasa Rose Kigongo ettu lya Ramadhan. Ku kkono ye supreme kaazi wa Kampala sheikh Hussein Ssekajja ate ku ddyo ye Sheikh Yasin Kiweewa akulira Ddaawa.

Supreme Mufti Galabuzi (owokubiri ku kkono) nga akwasa Rose Kigongo ettu lya Ramadhan. Ku kkono ye supreme kaazi wa Kampala sheikh Hussein Ssekajja ate ku ddyo ye Sheikh Yasin Kiweewa akulira Ddaawa.

Entekateeka y’ekisiibo ejja kugenda mu maaso ku mikutu gya Vision Group egy’enjawulo okuli Bukedde T.v, Radio n’olupapula olujja okubeeramu akakonge abantu kwebanaawangulira.
Akulira Ddaawa mu Uganda Sheikh Yasin Kiweewa ayozayozezza abantu okutuuka mu kiseera kino nga bakyali balamu n’asaba buli muntu okugisiiba nga Ramadhan ye esembayo kubanga tamanyi buwangaazi bweyagererwa kunsi
Tags: