Mufti Mubajje atongozza enteekateeka y'okudduukirira Univasite y'obusiraamu

MUFTI wa Uganda Sheikh Shaban Mubajje atongozza kaweefube w’okuduukirira Yunivasite y’Obusiraamu eyamba okusomesa  bamulekwa n’abatesobola eya Islamic Call University College n’asaba abantu bulijjo okufaayo okuwagira ebyabwe.  

Mubajje ne banne nga batongoza enteekateeka
By Huzaima Kaweesa
Journalists @New Vision

MUFTI wa Uganda Sheikh Shaban Mubajje atongozza kaweefube w’okuduukirira Yunivasite y’Obusiraamu eyamba okusomesa  bamulekwa n’abatesobola eya Islamic Call University College n’asaba abantu bulijjo okufaayo okuwagira ebyabwe.

Mubajje nga asinziira ku kitebe ky’Obusiraamu e Kampala mukadde yatongozza entekateeka eno eyatuumiddwa ‘’Resource Mobilisation’’ n’ategezezza nga bwebaatandikawo yunivasite eno n’ekigendererwa eky’okubangula abaana b’eggwanga okubafuula ab’omugaso munsi n’okulwanyisa ekizibu ky’obutamanya obwali buzinngamya enkulakulana.

Ategezezza nti abayizi abasoba mu 900 abasomera mu yunivasite eno tebalina mwasirizi nga betaaga okubakwasizaako ku lw’obulungi bw’Obusiraamu wamu n’eggwanga okutwaliza awamu.

Mubajje ne Eng. Badru Kiggundu

Mubajje ne Eng. Badru Kiggundu

Kyokka Mubajje alaze obwetaavu bw’okuweerera abaana n’ategeeza nga edda bwebali balowooza nti abaana b’Abasiraamu tebasoma n’ategeeza nga bino byonna byebajja okunogera eddagala mu kutandikawo yunivasite eno era nga musanyufu ni kati waliwo enjawulo nnene ddala.

Akukkulumidde abazadde abatayagala kuweerera baana n’abasaba okukozesa eby’okulabirako eby’abo abakola eby’omugaso mu ggwanga nga bayita mu kusoma.

Akulira olukiiko olufuzi olwa yunivasite eno Eng. Badru Kiggundu ategeezezza nga entekateeka y’okuduukirira yunivasite eno bweyatandise  nga erimu okusonda ensimbi ez’okuweerera abaana n’okusasula abakozi.

Ategezezza nga bwebakyalina ebintu bingi eby’okukolako okulaba nga bakulaakulanya yunivasite eno n’asaba buli ssekinoomu okuvaayo okubakwasizaako.

OLluvannyuma abasiraamu baatandise okweyama ensimbi ezinayambako okuddukanya emirimu ku yunivasite eno era Mufti Mubajje n’abasiima olw’omutima ogwo kyokka n’abasaba okufuba okutuukiriza obweyamo bwabwe.