Mpuuga agaanyi okuwuguka olw’ababaka abatandise okwejjusa

AKULIRA oludda oluwabula gavumenti mu Palamenti, Mathias Mpuuga alangiridde nga bwe bakyazize entuula za Palamenti wadde nga waliwo bannaabwe abalabika nga batandise okutendewalirwa.

Mpuuga agaanyi okuwuguka olw’ababaka abatandise okwejjusa
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision
#Mpuuga #ababaka b'oludda oluvuganya #Palamenti

AKULIRA oludda oluwabula gavumenti mu Palamenti, Mathias Mpuuga alangiridde nga bwe bakyazize entuula za Palamenti wadde nga waliwo bannaabwe abalabika nga batandise okutendewalirwa.

Mpuuga yasiznidde mu lukiiko lwa bannamwulire lwe yatuuzizza ku Palamenti n’ategeeza nti tebannaseeseetuka wadde yinci emu okuva ku ky’okuzira entuula za Palamenti kuba bye baasaba Gavumenti tebinnadibwamu.

Ezimu ku nsonga ze yagambye ze batannafuna kuddibwamu ye ey’okukwata abantu ne basibwa nga tebawozeseddwa, ebikolwa by’okulinnyirira eddembe ly’obuntu, okukwata Abasiraamu n’endala kyokka wonna tebannafuna kunnyonnyolwa.

Kino we kijjidde nga Sipiika wa Palamenti, Annet Among yaakamala okulabula ababaka booludda oluvuganya nga bw’ajja okuwalirizibwa okukozesa amateeka babonerezebwe singa banaayosa enkiiko ezisukka ku zikkirizibwa mu mateeka. Zibeera 15.

Yagambye nti wadde nga Palamenti yabadde esuubira okufuna okunnyonnyolwa okuva mu gavumenti ku nsonga zaabwe, kyokka kirabika nga si kya kumpi kuba yakitegeddeko nti baminsita abavunaanyizibwa balina ensonga endala ze bakyakolako ezitalinda.

Kyokka Mpuuga yagambye nti tebajja kuwugulwa bigambo bya Sipiika ku by’okwosa n’agamba nti ne bwe kinaaba kyetaagisa kugobwa mu Palamenti naye nga Mpuuga agaanyi okuwuguka olw’ababaka abatandise okwejjusa balwaniridde eddembe ly’abantu eririnnyirirwa, bajja kukikola.

Ku ky’ababaka abamu n’addala aba FDC abakkiririza e Najjanankumbi abeetaba mu ntuula, Mpuuga yagambye nti ddembe lyabwe naddala bwe baba balaba ng’ensonga ze balwanirira tezibakwatako. Ababaka nga Nandala Mafabi (Budadiri West) ne Cecilia Ogwal (mukazi/Dokolo) aba FDC be bamu ku batagwa ntuula za Palamenti.

“Bwe mulaba abamu abatali naffe mukimanye nti bandiba nga balinnya mu kimu ne Gavumenti, Ng’enda kuyita bannampala b’ebibiina byonna ebivuganya abanahhamba nti tebali naffe mbasindikire nnampala wa NRM alabe w’abateeka,” Mpuuga bwe yagambye.

Kino we kijjidde nga waliwo ababaka b’oludda oluvuganya abaakulembeddwa Charles Tebandeke (Bbaale) abaagambye nti bejjusa obutabeera mu Palamenti ekyatuusizza okuyisa etteeka erikwata ku mafuta erya Petroleum Supply (Amendment) Act, 2023.

“Ekyayisiddwa kookolo awedde emirimu agendereddemu okulya ebyenfuna by’eggwanga. Singa twali mu Palamenti twandikoze buli ekisoboka okuliremesa kuba lijjudde obwannakyemalira kuba ligaana abantu obutamala geenyigira mu kusuubula amafuta” Tebandeke bwe yagambye.

Asinasi Nyakato (mukazi/Hoima City) yasuubizza okutwala Gavumenti mu mateeka olw’okuyisa etteeka lya Petroleum Supply (Amendment) Act, 2023 nga tesoose kwekenneenya ndagaano yakoleddwa wakati w’ekitongole kya UNOC (Uganda National Oil Company) ne kkampuni ya VITOL gy’egenda okukwatagana nayo mu kusuubuza amasundiro ga kuno amafuta. Kyokka Mpuuga yagambye nti tewali kye bayinza kufiirwa nga tebali mu Palamenti kyenkana bulamu bw’abantu abatulugunyizibwa buli olukya.