WABADDEWO ekyekango , omukazi abadde asala olulagala ku kitooke amasannyalaze bwe gamukubye n'afa.
Bibadde mu zzooni ya Kibe ku Kaleerwe mu Kampala, amasannyalaze bwe gasse Fatuma Namuwonge , mu ntiisa.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala Luke Owoyesigyire, agambye nti , batandise okunoonyereza ku bali emabega w'okubbirira amasannyalaze gano ne gatuuka okutta omuntu.