MIRIAM Nandyose Kavuma, nnamwandu w’omugenzi Godfrey Kaaya Kavuma, eyaliko omumyuka wa Katikkiro wa Buganda, yabeerako ne Ssaabasajja Ronald Muwenda Mutebi II okumala ebbanga ebweru w’eggwanga, anyumya ku bwetoowaze bwa Mutebi gw’agamba nti, mukkakkamu okukamala. Agamba nti:
Omulangira Mutebi namumanya ndi Bungereza, nga nnyina Kabejja Sarah Nalule yaakafa, kuba yafa wendi mu ddwaaliro era nze omu ku baamugumya ne munne Omulangira Walugembe kati omugenzi.
Nga twakafumbiriganwa ne baze Kavuma mu 1967, twalina mukwano gwaffe Elisa Kironde, eyali ssentebe w’ekitongole ky’amasannyalaze ekya UEB ebiseera ebyo ffanfe w’omwami wange ate nga mukwano gw’embuga.
Baze yali akola mu kitongole kya Coffee Marketing Board, bano baamutuma okugenda okukolera mu Amerika, era nagenda naye ne ubeerayo ebbanga ne tuzaalirayo n’abaana, oluvannyuma twava mu kibuga New York eky’omu Amerika ne tugenda e Bungereza.
Ebiseera ebyo, nali lubuto lwa muwala waffe Jackline gwe nazaalira e Bungereza mu 1972.
Nayisibwa bubi ddala mu kuzaala era kata bannongoose. Mw. Kironde naye yali Bungereza ebiseera ebyo.
Yajja mu ddwaaliro lya George Hospital e Parkington e Bungereza gye nazaalira okundabako, wabula yajja ne maama Kabejja Sarah Nalule, maama wa Ssaabasajja
Ronald Muwenda Mutebi II.
Nali munafu nga sirina maanyi, n’omutwe ssaasobola kuguggya wansi nga ntunuulira batunuulire.
Kironde yali musajja musaaze, kwe kuηηamba nti; “Vva mu buliri obuuze ku maama ono kuba muntu wa maanyi”, naye nga sisobola, ne babeeraawo nga banyumya naye
nga nze sirina maanyi. Bajja ku ssaawa nga 5:00 ez’oku makya, zaali ziwera 6:00 Kironde n’asiibula nti, aliko obuvunaanyizibwa obulala bw’agendako.
Maama Kabejja Sarah Nalule ye n’agaana okugenda ng’agamba nti, yali tasobola kundeka mu ddwaaliro nzekka mu mbeera gye nalimu kuba ssaalinawo mujjanjabi,
n’asalawo okusigala nange, nga bw’annyumiikiriza mpolampola okutuusa akawungeezi ssaawa nga 12:00 n’alyoka ansiibula.
Nneewuunya nnyo maama Sarahomutima omulungi gwe yalina, twali tetumanyiganye, ogwo gwe gwali omulundi gwange ogusooka okumulaba ate nga yansanga ndi mulwadde, naye n’anfaako bwatyo.
NSISINKANA MUTEBI E BUNGEREZA
Nga wayise ekiseera kya myaka nga ebiri, Mw. Kironde yantegeeza nti, maama Sarah Kabejja yali mulwadde n’aηηamba tugende tumulambuleko era ne tugenda mu ddwaaliro gye yali lye sikyajjukira linnya.
Twagenda okutuuka ku maama Sarah nga muyi takyasobola kwogera, nange nakola nga ye ne nsigalawo mu ddwaaliro,akadde ako Omulangira Ronald Mutebi ne muto we, Omulangira Walugembe (kati omugenzi) baaliwo mu ddwaaliro nga bali mu myaka emitiini nga bavubuka,ne tutandika okwogeraganya nabo mpolampola wabweru mu
luggya lw’eddwaaliro.
Waayita akaseera katono, maama Sarah Nalule n’assa ogw’enkomerero nga wendi, eyo ye yali entandikwa yange okukwatagana n’Omulangira Mutebi, yali mu myaka nga 16.
Baatandika okukaaba ng’ennaku ebaluma, nga balaba taata yali yaakafa ebbanga si
ddene ate nga kati ne maama agenze. Nabakwata bwenti ne mbagumya, kye nzijukira Omulangira Mutebi yali muvubuka mugumu ddala, ng’olaba yeegumya eriiso
amaziga anyigako bunyizi nga tayagala kukuba mulanga, naye nga munne Walugembe talina bugumu wadde ng’akaaba nnyo. Nabagumya okubazza mu mbeera essaawa eyo nga nze nninga maama waabwe, era awo we twatandikira okukwatagana ennyo.
Oluvannyuma baze Kavuma yabeeranga amukeberako ew’omukuza we Omuzungu, Muteesa gye yamuleka e Bungereza, kuba naye (baze Kavuma) yalina enkwatagana
y’amaanyi n’Obwakabaka ne twongera okumanyagana.
Mbeera n’Omulangira Mutebi nga mukkakkamu ebitagambika
Bwe yatuuka ku yunivasite ng’awezezza emyaka 18, olwo aze yali asindikiddwa okukolera e Kenya nga gye tubeera, Omulangira Mutebi ne yeegatta ku yunivasite ya Cambridge e Bungereza.
Twakola entegeka nga buli luwummula ajja e Kenya, twali twagulayo amaka nga gye tubeera n’awummula naffe okumala ekiseera nga tubeera naye, era
awaka waaliwo ekisenge kye.
Abaana baffe baali bato, ng’Omulangira Mutebi ye mulenzi omukulu aliwo awaka, naye nga yeeyisiza ddala nga baaba waabwe. Ng’abaagala okukamala n’azannyanga nabo ate nga muvubuka mukkakkamu ekitenkanika.
Nga naffe tuli basanyufu okubeera naye, ne nfuuka maama gy’ali naye n’afuuka omwana gyendi okutuuka leero.
Yali muvubuka mwetoowaze ebitagambika, twalina mmotoka awaka, naye nga bw’aba ayagala okuvuga mu mmotoka yange, ajja n’obuwombeefu obungi
n’aηηamba nti; “Maama Miria, olina gy’olaga? Nsaba nkozeseeko ku mmotoka yo”, nga bwe mba siriiko lugendo ng’agitwala g’agendako gy’ayagala.
Bye nsinga okumujjukirako ye musajja ow’eddembe ennyo, tapapira nsonga, teyeegulumiza, awa abantu ekitiibwa, mukkakkamu.
Muganda ddala ate Muzungu nnyo kuba yonna yakulirayo. Mu kulaba okwange, Mutebi yatwalira ddala empisa za kitaawe Muteesa II, kuba naye yali mukkakkamu nnyo ate ng’ayagala abantu.
Kye nnyinza obuteerabira, yanyumirwanga nnyo otulo tw’oku makya, nga yeebaka ne yeegolola okutuusa we tuggweeramu n’alyoka azuukuka ate okubaako by’akola, naye nga tugaana mugaane kuba twali tumanyi nti, y’alinze okutuula ku Nnamulondo, yali wa ddembe nnyo ate nga ne kati eddembe akyalirina.
Waayita ekiseera kitono nga tuli e Kenya, n’akomawo okwa boobwe ku butaka e Buganda, naye na kati nkyamutenda obukkakkamu, era okuva olwo yafuukira ddala omwana gyendi.
Enkolagana yamera, twasigala nga maama n’omwana, mwami Kavuma bwe yafa mu July 27, 2019 nange Ssaabasajja Ronald Muwenda Mutebi yambudaabuda
okunneerabiza ennaku. Waali waakayita wiiki ssatu nga tumaze okuziika baze, n’ankubira akasimu n’aηηamba nti, “Maama Miria jangu ko eno, leka kwekubagiza nnyo”, bwe natuukayo ng’akoledde Omulangira Ssemakookiro akabaga k’amazaalibwa” ne twogera n’ang’umya. Era tewaayita kiseera kinene, n’ankubirako okumbuuza nga bwendi, okutuuka leero, Ssaabasajja
akyantwala nga maama. Nsaba Mukama ayongere okumuwangaaza.