AKOLANGA Minisita w'ebyenjigiriza Dr. JC Muyingo asabye abagaba layisinsi z’amatendekero okuzima ago agatalina bisaanizo.
Okwogera muyingo abadde mu kufulumya bibuuzo by’abayizi abasoma obusawo n’ebyekuusa ku busawo nga omukolo gubadde ofiisi ya ssabaminisita mu Kampala .
Ebibuuzo bino byatuulwa abayizi 89,663 mu matendekero mu matendekero 223 okwetoolola eggwanga ku bano 75,577 bakyeyongerayo n’emisomo gyabwe (84.3%) naabakola ebyakamalirizo baali 14,086 (15.7%) nga bino ebifulumye byabo abakola ebyakamalirizo .
Ssabawandiisi w’ekitongole ekibaga n’okugolola ebibuuzo by’abasawo ki Uganda Health Professionals Assessment Board (UHPAB) Hellen Mukakarisa Kataratambi ategeezeza nti ku bibuuzo by’omulundi guno abayizi ba satifikeeti baali 8,969 ate aba dipulooma 5117 .Agamba ku mulundi guno abasatifikeeti bakoze bulungi okusinga aba dipulooma
Ssentebe w’ekitongole ki UHPAB Alfred Driwale ategeezeza nga bwe baleese tulansikuliputi empya oluvanyuma lw’ebitongole okugattibwa nga eno yegenda okutandiika okufulumizibwa nga eno nyangu sinyangu ya kucupula .
Akolanga minisita w’ebyenjigiriza Dr. JC Muyingo nga yabadde omugenyi omukulu yeebazizza abayizi okutuuka ku buwanguzi buno era nategeeza nti n’abayizi abettanidde amasomo g’obusawo n’ebyekuusa ku busawo bwebeeyongedde okusinga ku mwaka oguwedde .
Ategeezeza nti wadde guli gutyo amasomero omugenda abaana bano galina okuteekebwako akazito okulaba nga galina byonna ebyetaagisa okusomesa abaana nga teganaweebwa layisinsi kutandika kusomesa