Ssentebe wa NRM e Lubaga, Ivan Kamuntu Majambere Ssemakula, asimattuse okufiira mu kabenje bw’abadde ku konvooyi ya pulezidenti Museveni okumunoonyeza akalulu mu bitundu by'e Kitgum.

Mmotoka ya Majambere mwe yabadde eyakoze akabenje.
Mmotoka ye mw’abadde atambulira ekika kya Harrier UBH 215F efunye akabenje ye ne ddereeva we ne baddusibwa mu dwaaliro nga tebali bulungi, baabadde bava mu bitundu by'e Kitgum pulezidenti Museveni gy'abadde akubye olukung’aana ku Lwokuna nga bakomawo e Kampala.
Asimattuse n'ebiwundu ebitonotono naye ddereeva addusiddwa mu dwaaliro ng'ali mu mbeera mbi ddala.

Majambere asimattuse akabenje
Akabenje Kano kagudde ku kyalo Nadiang ku luguudo oludda e Gulu, mmotoka bw’eremeredde ddereeva wa Majambere ng'agezaako okutaasa omugoba wa bodaboda ayingidde ekkubo nga tebamwetegekedde. Bombi bakomezeddwaawo e Kampala gye bali mukufunira obujjanjabi.