Minisita w'obutebenkevu mu ggwanga Maj. Gen. Jim Katugugu Muhwezi asabye abavubuka okwewala okukozesa obubi emikutu gimugatta bantu wabula bafube okulaba nga bakolerako ebyo ebibakulakunya
Muhwezi yasinzidde ku kitebe kya disitulikiti ye Rukungiri, ku mukolo gw'okulayiza olukiiko lw'abavubuka n'olw'abakadde nasaba abavubuka okwewala okukozesa yintaneeti nga baseketerera Gavumenti.
Yagambye nti abavubuka balina okukozesa yintaneeti nga bayigirako ebibakulakulanya, okuyiiya ebipya, okuyungirako emikwano emipya ate egigasa ssaako okwebuuza ku bakugu kubintu eby'enjawulo.

Muhwezi (ow'okusatu ku ddyo) ne Tumukunde mu kulayiza olukiiko lw'abavubuka n'abakadde
"Yintaneeti ssi mbi naye tulina okumanya bwetugikozesa kuba kintu kikulu nnyo abavubuka n'abaana abato okufunirako emirimu, okutundirako bizinensi zaabwe olwo kibayambe okwongera ku nnyingiza yaabwe." Muhwezi bweyayongeddeko.
Muhwezi era nga ye mubaka wa Rujumbura County mu disitulikiti ye Rukungiri, yasoomozezza abavubuka nti ekiseera ky'okulonda kyaggwa, nga mukino balina okukyusa obwanga bakole ebyo ebibagasa ate ne Gavumenti ebongere obuyambi singa baba bakolera wamu.
Yayongedde n'akubiriza abavubuka abalina bye batuseeko okuyamba ku bannabwe ssaako abakadde, okulaba butya bwebayinza okufuna mu ssente za Gavumenti ezikulakulanya nga etandikirawo emirimu emitonotono.
Yategezezza nti munteekateeka y'okukolera abantu, baasazeewo nga bbo ababaka mu disitulikiti ye Rukungiri okukolera ewamu mumyaka gino 5 okulaba nga basitula embeera z'abantu mu disitulikiti wonna.
Ye Minisita w'ekikula ky'abantu n'abakozi, Lt. Gen Henry Tumukunde yasabye abantu mu Rukungiri okukozesa baminisita ababiri bebaafunye okulaba nga babaako edaala eddala lye batukako.

Muhwezi ng'aliko byawandiika
Yagambye nti basanyufu nnyo olw'okuba Pulezidenti Museveni yabawadde Minisita ava mukitundu kyabwe, kyeyagambye nti kigenda kubayamba okutuusa obwetaavu bwabwe eri Pulezidenti mubwangu kuba balina ekkubo mwebayita.
Yayongeddeko nti okuva Pulezidenti bweyabawa Minisita w'obutebenkevu mu ggwanga, Maj Gen Jim Muhwezi, ebikolwa by'obumenyi bw'amateeka byaakendeera mu disitulikiti wadde nga waliwo obutonotono obukyaliwo wadde nga nabwo bajja kubulinnya ku nfeete.
Muhwezi ne Tumukunde beyamye okuyamba ku bavubuka n'abakadde bano nga baabasabye bakole SACCO zaabwe olwo obuyambi buyite omwo okusinga okuwa omuntu sekinoomu