NNAABAGEREKA Sylivia Nagginda asabye abasomesa okusala amagezi okubeerako eky'okukola ku ngeri ennungamu eyinza okuyitibwamu okuyigiriza n'okusomesa abaana Olulimi Oluganda.
Nnaabagereka agamba nti eggwanga lirina ekizibu ky'abaana okukaluubirizibwa okumanya Olulimi Oluganda nga kiva ku budde obungi bwemala nga bayigirizibwa Olungereza okusinga okusomesebwa Oluganda.
Yawadde eky'okulabirako eky'ekiseera weyasomera ku Victoria P/S e Ntebe wadde lyali ly'abazungu, banne bwebasomanga okuva mu bitundu bya Uganda ebirala, nga bonna boogera bulungi ennimi zaabwe enzaliranwa.
"Naye Kakati bitusobedde, tetumanyi kyakukola kyokka Abasomesa tulabe eky'okukola kuba kikulu nnyo (abaana okumanya Oluganda," Nnaabagereka bweyasabye abali mu by'enjigiriza.
Yayongedde n'agamba nti " Waliwo abagamba nti Taata ne Maama boogera nnimi za njawulo; zonna abaana baziyige oba boogereko lumu, tuleme kwesiba ku luzungu lwokka kubanga n'amawanga amalala okuli Denmark, Sweden, Germany boogera ennimi zaabwe , Oluzungu boongerezaako bwongereza," Maama Nnaabagereka bweyawadde okuwabula ku kutumbula ennimi.

Maama Nnaabagereka ng'ali Naabasakaate
Abbadde Bulange-Mmengo leero 7,2024 bwabadde atongoza Ekisaakaate Kya Nnaabagereka 2025 nga ky'ekigenda okubeera ekye 18 ekigenda okubeera ku Janan SS ku ttabi lyayo ery'e Bombo-Bulemeezi wansi w'Omulamwa ogugamba nti "Okukwanaganya Obuwangwa bwaffe ne Tekinologiya"
Nnaabagereka yalabudde abantu nti nga bakozesa tekinologiya n'omutimbagano, tebasaanye kuva ku nnono n'obuwangwa bwabwe wabula bamukozese okutumbula Obuwangwa omuli n'olulimi.
Tekinologiya ono,Nnaabagereka yategeezezza nga bwasobola okutumbula embeera z'abavubuka okuyita mu kubatonderawo emikisa egivaamu emirimu.
" Ndi musanyufu okukitegera nti buli yonna gyetukubye embuga y'ekisaakaate, tulese nga wakyuse mu mbeera ate n'obungi bw'abayizi. Nneebaza aba Homusdallen e Gayaza abaatukyaza omwaka guno ate ne nsanyukira ku Janan SS okusalawo okutukyaza mu 2025," Nnabagereka bweyagambye.
Adrian Mukiibi nga y'akulira emirimu mu Nnabagereka Development Foundation abategeka Ekisaakaate kino, yagambye nti ekya 2025 kyakubeerawo okuva January 4-18,2025 era buli muyizi anakyetabamu wakusasulirwa 400,000/-
Mike Kironde nga y'akulira Janan Schools okuli ery'e Kabalagala ne Kalule-Bombo. Yawaddeyo obukadde 10 eri NDF okulondayo abaana okuva mu Famire eziteesobola bajje babangulwe mu kisaakaate kino.
Omugenyi ow'enjawulo ku mukolo guno yabadde, Sylivia Wairimu Mulinge Akulira MTN mu Uganda eyebazizza Nnabagereka olw'okufaayo ku kutumbula embeera z'abaana abato kubanga ly'essuubi ly'ensi ery'enkya.
Abavujjirizi bangi abeesowoddeyo okukwatizaako Nnabagereka okuteeka teeka Ekisaakaate kino okuli MTN Momo ng'akulira ekitongole kino, yayanjudde ettu lya bukadde 55 mu nteekateeka eno. Abalala kuliko National Drug Authority, Jesa Milk, Finance Trust Bank, Sumz.
Minisita w'enkulakulana y'abantu ba Buganda ne ofiisi ya Nnaabagereka, Cotlida Nakate Kikomeko yalaze okwenyumiriza mu kisaakaate ng'ekiyambye ennyo okuzimba omwoyo gwa Buganda ogutafa mu baana okuyita mu kubasomesa ensonga Ssemasonga etaano eza Buganda ate n'okubayigiriza ennyingo z'omulembe omuggya okuli obweerufu, okukola n'okwagala, obuyiiya.
Omukubiriza w'Olukiiko lw'Abataka, Omutaka Namwama Augustine Kizito Mutumba, Ssabawolereza wa Buganda Christopher Bwanika, Minisita w'Obuwangwa mu Buganda , Dr. Anthony Wamala , Hajjat Mariam Mayanja nga ye Minisita w'abakyala ne Bulungibwansi n'abakungu abalala babaddewo.
Aba Homisdallen P/S bazizzaayo engoma ekola ng'akabonero k'Ekisaakaate ate oluvanyuma Nnabagereka ng'akwasa Kironde owa Janan Schools bendera y'ekisaakaate.