Aba Gymnastics basiimiddwa olw'okuwangulira Uganda emidaali mu Azerbaijan

Ekibiina ekiddukanya omuzannyo gwa gymnastics mu Uganda ekya Gymnastics association of uganda kisiimye bamusaayimuto abaawangulidde uganda emidaali egya zaabu mu mpaka ezaakomekkerezeddwa mu kibuga Baku ekya Azerbaijan sabiiti ewedde.

Abazannyi nga balaga certificates zaabwe
By Julius Kafuluma
Journalists @New Vision

Ekibiina ekiddukanya omuzannyo gwa gymnastics mu Uganda ekya Gymnastics association of uganda kisiimye bamusaayimuto abaawangulidde uganda emidaali egya zaabu mu mpaka ezaakomekkerezeddwa mu kibuga Baku ekya Azerbaijan sabiiti ewedde.

Uganda yakiikirirwa bamusaayimuto bana okwali Nakayiwa shanice, Tuhairwe Abigail ne Pawot Ayiko abali wansi wemyaka 6-9 nga guno gwe mulundi gwabwe ogw'asookedde ddala mu mpaka eziri ku mutendera gwensi yonna.
Abazannyi nga balaga certificates zaabwe

Abazannyi nga balaga certificates zaabwe

Tiimu eno yakulemberwa shanice Nakayiwa era nga yewunyisa abategesi oluvannyuma lwokuttunka namawanga amalala okwali Georgia, mongolia nabategesi aba Azerbaijan.
 
Bano baawereddwa ekijjulo ssaako n'okubawa satifikeeti nga omukolo gwakoleddwa president w'ekibiina kino Harriet Ayaa.
 
Ayaa yayogedde ku buwanguzi bwabaana bano nga obugenda okubayamba okwongera okubunyisa omuzannyo mu bayizi