MAAMA abadde omukambwe ate ng’akulukusa n’amaziga, awazeewaze mutabani we okutuuka mu kkooti n’alaajanira omulamuzi amukalige emyaka 30 awone ekibambulira ky’omwana.
Nalongo Aidah Mirembe y’akutte mutabani we James Mafaabi 24, n’amusimba mu kkooti ya Nateete Lubaga e Mengo mu maaso g’omulamuzi Amon Mugezi amusomedde ogw’okutuntuza nnyina n’amutuusaako obuvune obw’amaanyi.
Mirembe eyatutte mutabani we.
Mu kkooti, Mirembe yategeezezza omulamuzi ng’omwana bw’amufuukidde ekyambika n’amusaba nti waakiri amusibeyo emyaka 30 gyokka e Luzira nga bw’anaaviirayo aliba ateredde wabula awatali ekyo, ayolekedde okumuttira mu nnyumba.
Maama mu maziga n’ennyiike, yagambye nti omwana yatuuka n’okumweyambulira okumulaga obusajja bwe ekimwennyamiza, okunywa enjaga gwo gwafuuka mulimu gwa mutwe, alina ebikoosi by’atambula nabyo ebimweraliikiriza nti oba oli awo baalimutuusaako obulabe.
Yayongedde okuttottola obukambwe bw’omwana kkooti n’ewuniikirira nti nga July 10, 2024 e Nateete fakitole zzooni, Mafaabi yakomawo anywedde enjaga n’atandika okumukanda emmere wabula bwe kitaamumalira, n’atandika okumuwumiza agakonde mu mba katono amannyo agaggyemu.
Annyonnyola nti yamusamba ensambaggere ez’okumukumu ssaako okumukuba embooko. Yakwata enku n’akuma omuliro mu nnyumba amwokezeemu wabula abantu ne badduukirira n’awona okufa.
Nnaalongo agamba omwana amukyayisizza balirwana olw’okuba akwata amayinja n’ayasa endabirwamu zaabwe ate ng’ayasasula kwe kutuuka okumwetamwa n’okwekyawa n’amutwala ku Poliisi emukangavvulu.
Nnaalongo yagambye nti ku baana be oyo ye yagaana okusoma era okuva lwe yamalako eky’omusanvu n’atandika ebibinja by’abayaaye abanuusa amafuta, okunywa enjaaye n’ebitamiza ebirala wabula olumugambako ng’amukyukira okumukuba. Ono yagambye nti bimutamye amukwasizza Gavumenti emugunjule.
Mafaabi atalinaamu wadde ettondo ly’empisa oba obwetoowaze, obwedda awoza kimu “Gaalo nsonyiwa” mu nkola y’abayaaye newankubadde omulamuzi yabadde amusabye okwetondera nnyina.
Kkooti yasizza ekiragiro Mafaabi atwalibwe bamukebere omutwe okufuna abanaamubudaabuba okuva ku biragalalagala era omulamuzi n’amusindise ku limanda e Luzira okutuusa nga October 15, 2024 lwe guddamu.