Amawulire

Lwaki Chameleon akyagaanye okumulongoosa ; ebipya ebizuuse ku bulwadde obumuluma

EMBEERA y’omuyimbi Joseph Mayanja amanyiddwa ennyo nga ‘Dr. Jose Chameleone’ ekyali mbi mu ddwaaliro e Nakasero gye yaweereddwa ekitanda ku Lwokuna nga December 12, 2024!

Lwaki Chameleon akyagaanye okumulongoosa ; ebipya ebizuuse ku bulwadde obumuluma
By: Musasi Bukedde, Journalists @New Vision

EMBEERA y’omuyimbi Joseph Mayanja amanyiddwa ennyo nga ‘Dr. Jose Chameleone’ ekyali mbi mu ddwaaliro e Nakasero gye yaweereddwa ekitanda ku Lwokuna nga December 12, 2024!

Ensonda mu ddwaaliro zaategeezezza nti wadde abasawo baamutaddeko eccupa z’eddagala erikkakkanya obuliumi naddala bw'alina mu lubuto gattako nókumujjanjaba omusujja kyokka embeera ye ekyagaanyi okutereera.

Chameleon Lwe Baamututte Mu Ddwaaliro E Nakasero Wiiki Ewedde.

Chameleon Lwe Baamututte Mu Ddwaaliro E Nakasero Wiiki Ewedde.

Kigambibwa nti abasawo baabadde baagala okutwala Chameleone mu ssweta okulongoosebwa kyokka n’agaana era n’abaffamire ne bagaana okussaako omukono awatali kuwa nsonga emugaana kumulongoosa.

Kyokka Maneja Robert Jackson Nkuhe ‘Mutima’ yategeezezza nti Chameleone ajja kuba bulungi kubanga ali mu mikono mituufu nágumbya abawagizi be emitima gibabeere wamu.

Waliwo n’ekiwandiiko ekyafulumiziddwa abaddukanya emikutu gya Chameleone gya ‘’Social Media’ nga basaba abantu okuleka Chameleone ne ffamire bayite mu mbeera eno nga tebataataaganyiziddwa.

Ebizuuse ku bulwadde obuluma chameleone

Ebizuuse biraga nti emyaka nga mukaaga egiyise, Chameleone yali asusse okukaaba olubuto okumuluma nga ne bw’akozesa eddagala teruwona.

Ye ne banne baasooka kulowooza nti alina alusa kyokka bwe baamukebera nga tazirina. Nga bitabuse, yagenda mu Amerika ne bamukebera ne bazuula nti akalulwe kalwadde.

Baamuwa amagezi nti yeetaaga kulongoosa kyokka olw’okuba yali tali bubi n’asooka akireka.

Kyokka mu July wa 2023, Chameleone eyali azzeeyo mu Amerika okukola mu ssaza ly’e Massachusetts gye yalina ekivvulu okulaba ne ku baana be abali mu ssaza ly’e Minnesota, yagwira obulwadde obwa mangu n’addusibwa mu ddwaliro nga bwe kyabadde ku luno ng’addusibwa e Nakasero ku Lwokuna.

Olumbe okumugwira yali mu Amerika mu ssaza ly’e Minnesota nga yaakava e Jamaica ne mutabani we omukulu Abba Marcus.

Abasawo baddamu okumwekebejja ne bamutegeeza nti kati yeetaaga kulongoosa bw’aba anaasigala nga mulamu oba si kyo yali mu ttabbu. Yali yeetaaga emitwalo 10 eza ddoola mu za Uganda obukadde nga 370.

Chameleone tayogera ku bulwadde buno mu lujjudde kyokka mikwano gye gigamba nti, akalulwe ke kaafunako obusirikitu bw’obutuli. Oba katugambe nti katonnya wadde si kituufu kutwalibwa nga bw’olaba ekidomola ekitonnya.

Kigambibwa nti Gavumenti ssente yazimuwa ng’eyita mu Bebe Cool mukwano gwe eyatuukirira abanene abaazisindika. Abasawo baamuwandiikira eddwaaliro ettuufu eryalina okukola omulimu n’atuukayo.

Ensonda zigamba nti abasawo baamulongoosa kyokka waliwo abagamba nti, abasawo baamuwa magezi agende yejjanjabise bwejjanjabisa kuweweeza kalulwe kubanga obulamu bwe butono nti ssinga bamusala okumugyamu akalulwe, okumulongoosa oba okumuteekamu akalala ayinza obutawona.

Tags:
Jose Chameleon
Kuyimba
Nakasero
Bulwadde
Kalulwe