MUNNAMATEEKA Ssaalongo Erias Lukwago 56, agguddwaako omusango ogwa nnaggombola n'asikindikibwa ku limandi e Luzira wakati mu ba ffamire ye mikwano gye okukulukusa amaziga!
Omusango ogwa nnaggomola Lukwago gw'agguddwaak gwa kumanya baali balya mu nsi yaabwe olukwe kyokka n'asirika mu kifo ky'okubaloopa mu booboyinza era ssinga gunaamukka mu vvi, wakuwanikibwa ku kalabba.
Lukwago, abadde Loodi Mmeeya wa Kampala yasimbiddwa mu maaso g'omulamuzi Ann Sarah Basemera owa kkooti y'eddaala erisooka e Makindye wakati mu kwerinda okw'amaanyi n'asomerwa omusango gw'okumanya abaali balya mu nsi olukwe kyokka
n'abasirikira.
Okutwalibwa mu kkooti Makindye, Lukwago baamuggye ku poliisi y'omu divizoni y'e Kira mu Wakiso, amagye gye gaamututte ku Lwokusatu ku makya ennyo era bannamateeka be nga bakulembeddwa Medard Seggona baategedde ku ssaawa nga 5:00 ez'oku makya nti musajja waabwe 'Rule of Law' ali ku Poliisi e Kira awo ne badduka za mbwa.
Lukwago yakwatibwa ku Mmande mu maka ge ku ssaawa 4:00 ez'oku makya, amagye bwe gaamusalako nga yeetegekera okutwalira Gen. Muhoozi Kainerugaba empapula ezimuyita mu kkooti ku musango ogwamuwawaabirwa nti azze yeewerera okutta Dr. Kizza Besigye.
Gen. Muhoozi yassa obubaka ku mukutu gwa X nti y'alina Lukwago ayiga Luwayiri era yafulumywa n'ebifaananyi bye. N'agattako nti amusonyiye wabula ajja kumala mu kkomera emyaka egitakka wansi wa kkumi!
EMBEERA YA LUKWAGO ETIISA
Mu kkooti, Lukwago yatuusiddwa ku ssaawa nga ziyise mu 10:00 ez'olweggulo ng'ali mu T-Shirt enjeru nga akutte ekkooti ye eya bbulu ow'amazzi mu ngalo. Emisuwa gyabadde gimwereeze ku mutwe ne mu bulago ng'amatama gaguddemu nga yenna apeeruuse. Enviiri ze zonna ku mutwe zaabadde zisaliddwaako so nga bwe yali akwatibwa yalina 'Cut' ng'enviiri ez'omu mabbali zokka ze nkalakate. Bwe yatuusiddwa mu kkooti yatudde ne mukyala we, Nnaalongo Zawedde era nga yenna mugonvu. Abawagizi be ne mikwano gye bakira bamubuuzaako nga abamu bwe bakulukusa amaziga olw'embeera gye yabaddemu.
SSEGONA AFUNVUBIDDE OKUMUTAASA EKKOMERA
Mu kkooti, omulamuzi Basemera yamusomedde omusangoB ogwa "Misprision of Treason' (okumanya ku bagenda okulya mu nsi olukwe n'obasirikira) n'agwegaana n'ategeeza omulamuzi nti, ye munnamateeka wa Dr. Besigye ne Hajji Obed Lutale abavunaanibwa emisango gy'okulya mu nsi olukwe kyokka ye bye bamuvunaana tabimanyiiko.
Lukwago yabadde awolerezebwa bannamateeka abaakulembeddwa Merdad Lubega Ssegona n'ategeeza kkooti nti, Lukwago musajja mulwadde muzibu asaanidde okuyimbulwa afune obujjanjabi obw'enjawulo. Yayongeddeko nti, Lukwago yalongoosebwa n'ateekebwamu ekyuma mu ddwaaliro e India ng'era mu kukwatibwa, ekyuma ekyo kyaseeseetuse nga kati kyetaaga okuddamu okutereeza n'okwetegerezebwa era byonna byakakasibwa abasawo ba wano mu Uganda nga tebasobola kujjanjaba mbeera eyo okuggyako India yokka y'esobola. Baaleese ebiwandiiko by'obujjanjabi bwe ng'obujulizi ku bye boogera. Ssegona yabuulidde omulamuzi nti, mu mbeera eyo Lukwago asaana akkirizibwe okweyimirirwa kubanga ne lwe baasembye okumupima puleesa ku poliisi, yabadde mu 217 nti era eby'okukwatibwa kwe byatadde obulamu bwe mu matigga.
Ssegona yannyonnyodde nti, Lukwago wa myaka 56 nga mingi nnyo okutwalibwa mu kkomera kubanga ssemateeka agamba ku myaka 50 abalirwa mu bakadde abatasobola kkomera. Yagasseeko nti, Lukwago musajja wa buvunaanyizibwa ng'abadde loodi mmeeya wa Kampala era yaliko omubaka wa Palamenti. Era nti, alina obuvunaanyizibwa obw'enjawulo nga mu kiseera kino y'akulira ekibiina kya People's Front for Freedom, ekyawandiisibwa mu mateeka.
N'agamba nti, mu kiseera kino Lukwago talina musango gwonna wabula yawaabirwako kyokka n'ayimbulwa ku kakalu ekiraga nti agondera amateeka.