Amawulire

Kkooti eyimirzza poliisi okusala ssente z’abaserikale ng'eziteeka mu SACCO awatali lukusa lwabwe

KKOOTI esazizzaamu eky’ekitongole kya Uganda Police Force okusalako ssente abaserikale ku buwaze ng’eziteeka mu nsako ya Exodus Co-Operative Savings and Credit Society nga tebafunye lukusa lwa baserikale abo.

Kkooti eyimirzza poliisi okusala ssente z’abaserikale ng'eziteeka mu SACCO awatali lukusa lwabwe
By: Margaret Zalwango, Journalist @New Vision

KKOOTI esazizzaamu eky’ekitongole kya Uganda Police Force okusalako ssente abaserikale ku buwaze ng’eziteeka mu nsako ya Exodus Co-Operative Savings and Credit Society nga tebafunye lukusa lwa baserikale abo.

 

Ensala ya kkooti erambuludde nti kino kiggyako abaserikale eddembe lyabwe okwetaaya nga we baagala.

 

Omulamuzi Bonny Isaac Teko mu nsala ye agambye nti abaserikale ng’abantu abalala balina eddembe lyabwe okusalawo oba abeera ku kibiina kyonna eky’obwegassi wadde okutereka ssente ze.

 

Omusango guno gwawaabwa munnamateeka era omulwanirizi w’eddembe Steven Kalali n’agamba nti okuva lwe baafulumya abaserikale ba poliisi mu 2015 e kabalye, poliisi yatandika okusala ku ssente ng’eziteeka mu SACCO eyo awatali kusooka kubategeezaako .

 

Poliisi ebadde esalako ssente wakati w’emitwalo 2 n’etaano awatali kuweebwa lukusa kuwulira kusalawo kwabwe ng’ate ne SACCO yennyini eriwo mu bumenyi bw’amateeka kubanga terina layisinsi nga bwe kirambikibwa mu mateeka.

 

Kalali yali yawawaabira ssaabawolera wa gavumenti kyokka ne yeegaana ng’agamba talina ky’amanyi ku SACCO eno ate aba Exodus SACCO baakalambira nti lyali ddembe lya muntu okwesalirawo okubeera mu SACCO eyo nti era baali baliwa mu mateeka era balagidde okufuna ebbaluwa ebakkiriza okukolwa okuva mu bbanka enkulu.

 

Omulamuzi Teko agambye nti ssaabawolereza wa gavumenti talina ngeri gye yagaana bya SACCO eno kubanga abaserikale bakozi ba gavumenti.

 

Kalali asanyukidde ensala ya kkooti ensala eno n’agamba abaserikale babadde baggyibwako eddembe lyabwe nga ssente zaabwe zisalibwa ku musaala gwabwe nga tebeeyagalidde era kati baddembe okugenda baggyeyo ssente zaabwe bazikolemu bye baagala.

 

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Tags:
Kkooti
Kusala
Kitongole
Exodus Co-Operative Savings and Credit Society
Uganda Police Force