Kkooti etandise okuwulira omusango gw’okutta Kaweesi

OLUVANNYUMA lw’emyaka 7 bukya eyali omwogezi wa Poliisi, Andrew Felix Kaweesi attibwa, kyaddaaki kkooti etaddewo olunaku lw’egenda okutandika okuwulirirako emisango musanvu egyaggulwa ku bantu munaana abagambibwa okumutta. Omu ku bo agaanye munnamateeka gavumenti gwe yamuwa okumuwolereza.

Abamu ku bavunaanibwa nga bali mu kkooti. Okuva ku kono; Abdul Rashid Mbaziira, Noorden Higenyi,Yusuf Mugerwa ne Bruhan Balyejjusa.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

OLUVANNYUMA lw’emyaka 7 bukya eyali omwogezi wa Poliisi, Andrew Felix Kaweesi attibwa, kyaddaaki kkooti etaddewo olunaku lw’egenda okutandika okuwulirirako emisango musanvu egyaggulwa ku bantu munaana abagambibwa okumutta. Omu ku bo agaanye munnamateeka gavumenti gwe yamuwa okumuwolereza.
Abavunaanibwa kuliko Bruhan Baryejjusa, Yusuf Siraje Nyanzi, Abdul Rashid Mbaziira, Aramanzan Noorden Higenyi, Yusuf Mugerwa, Joshua Kyambadde, Jibril Kalyango ne Shafiq Kasujja.
Fayiro yaweereddwa abalamuzi 4 okuli Andrew Bashaija, Suzan Okalany, Richard Wabwire Wejuli ne Winfred Nabisinde nga bano bali mu kkooti ewozesa emisango egiri ku mutendera gw’ensi yonna.
Nga bakulembeddwa omulamuzi Nabisinde, bataddewo olwa August 5, 2024 okutandika okuwulira emisango gino mu bujjuvu. Wabula omu ku bavunaanibwa, Kasujja, tagenda kubeerako. Kigambibwa yabula oluvannyuma lw’okuyimbulwa ku kakalu ka kkooti.
Ng’abalamuzi bano bateekateeka engeri gye bagenda okuwuliramu emisango, Nyanzi agaanye okuwolerezebwa munnamateeka David Kasadha, gavumenti gwe yamuwa okumuwolereza