Kkooti esindise makanika w’ewa Kisekka mu kkomera amaleyo emyaka 10 lwa kubba byuma bya mulongooti.

Ssegirinya ng'omuserikale amuleese mu kkooti.
Quarish Ssegirinya amanyiddwa nga Yasin Lubowa 30 nga makanika mu katale ewa Kisekka y’asindikiddwa mu kkomera ku misango esatu okuli okubba ebyuma by’omulongooti ,okusaalimbira ku kifo nga talina lukusa ssaako okutaataaganya ebyuma.
Omulamuzi Gladys Kamasanyu owa kkooti ya Standards, Utilities and Wildlife e Makindye bw’abadde amusiba agambye nti Ssegirinya yeetaaga aggyibwe mu bantu kubanga ebikolwa bye biteeka obulabe bwa maanyi mu bantu era bitaataaganya ebyenfuna, ebyempuliziganya ,ebyobujjanjabi mu malwaliro , ssaako okufiiriza kkampuni ssente empitirvu mu kuzzaawo ebyuma ebibbibwa.