Kkooti esazizzaamu ekiragiro ekyali kigaanye olumbe lw'omugagga wa St.Lucia e Namagoma okwabizibwa

KKOOTI enkulu evunaanyizibwa ku ensonga za maka e Makindye emaze n’ekkiriza omukolo gw'okwabya olumbe lw'omugagga w’essomero lya St. Lucia Hill school e Namagoma ku lw'e Masaka, Ssaalongo Joseph Nyanzi Kyavaawa.  

Kkooti esazizzaamu ekiragiro ekyali kigaanye olumbe lw'omugagga wa St.Lucia e Namagoma okwabizibwa
By Ponsiano Nsimbi
Journalists @New Vision
#Amawulire #St Lucia Hill

KKOOTI enkulu evunaanyizibwa ku ensonga za maka e Makindye emaze n’ekkiriza omukolo gw'okwabya olumbe lw'omugagga w’essomero lya St. Lucia Hill school e Namagoma ku lw'e Masaka, Ssaalongo Joseph Nyanzi Kyavaawa.  

Nnamwandu Nakawombe.

Nnamwandu Nakawombe.

Olumbe luno lwali lwakwabizibwa ku Lwomukaaga oluwedde nga  August 2,2023, kkooti n'eruyimirizza oluvannyuma lw'abamu ku bamulekwa okwekubira enduulu mu kkooti nga bawakanya eky'okulwabiza mu maka g'e Namagoma omugenzi gye yafiira ng'ate yalina amaka amakulu e Mutundwe.  

Bano nga bakulembeddwamu mukulu waabwe Joseph Mike Mawejje Nsereko Musisi ne Dominic Lutankome baawawaabira Omutaka w'Ekika ky'embogo Kasibante Fredrick David Kayira, maama waabwe nnalongo Deborah Nakawombe Nyanzi , Francis Xavier Ssentamu, Alex Ludovic Walakira ne Carol Bukirwa nga bavunaana okwekobana okwabya Olumbe lwa kitaabwe awatali kukkaanya nga bamulekwa.  

Abamu ku baffamire oluvannyuma lw'olukiiko.

Abamu ku baffamire oluvannyuma lw'olukiiko.

Mawejje mu mpaba ye yategeezeezza kkooti nti kitaabwe yalina abakyala babiri n'amaka ga mirundi ebbiri okuli ag'e Namagoma ne Mutundwe kyokka yaziikibwa Bukiri-Bukomansi gy'agamba nti olumbe gye balina okulwabiza kubanga kitaabwe gye yaziikibwa ate ffamire zonna tezirinaawo kakwate nga bwekiri e Namagoma ne Mutundwe 

Ekiragiro ekiyimiriza olumbe kyayisibwa omulamuzi Samuel Olumu eyalagira enteekateeka zonna ez'okwabya olumbe okuyimirizibwa,enjuyi zombi zisobole okuddamu okutuula okukkanya ku lunaku olulala n'ekifo ekirala awalina okubeera olumbe.  

Kino kyakolebwa era omulamuzi n'awuliriza enjuyi zombi nga ku Lwokusatu lwa wiiki eno omulamuzi Jeanne Rwakooko yalagidde olumbe okugenda mu maaso mu maka g'e Namagoma oluvannyuma lw'okukizuula nti gano nago gaali maka ga mugenzi ate nga bamulekwa bonna okuli n'abawakanya baali baakikkaanyako oluvannyuma bannaabwe ne beekyusa.  

Omugenzi bwe yali afaanana.

Omugenzi bwe yali afaanana.

Ku bamulekwa 19, abaliwo 16, okuli n'abazaalibwa e Mutundwe baasemba  eky'okwabya olumbe luno e Namagoma nga basatu bokka be bawakanya nga n'agamba nti e Mutundwe wafunda tebasobola kutegekerawo mukolo guno, eky'obutatwala lumbe Bukiri kitaabwe gye yaziikibwa n'ategeeza kkooti nga bwe batalinaayo nnyumba.  

Oluvannyuma lw'ensala eno bamulekwa baayise olukiiko olwa mangu e Namagoma okuteesa ku ng'eri gye bagenda okutambuza omukolo gw'olumbe luno leero (Lwomukaaga) nga baluwakanya tebanaddamu kujjulira.  

Alex Lodovic Walakira yategeezeezza nti maama ow'e Mutundwe bwe yafa taata yaddamu okugattibwa ne maama ow'e Namagoma ekyafuula amaka gano amakulu era nga galina oluggya olugazi. 
 
Ben Kamya Ssengoba nga naye azaalibwa Mutundwe yategezeezza nti Mawejje ye mwana omukulu naye akoze kinene okuswaza ffamire olw'omululu ng'ono yatuuka n'okutwala bakadde be mu kkooti olw'ebintu byabwe.  Yamusabye okwekuba mu mutima abeegatteko basobole okwabya olumbe lwa kitaabwe n'okutambulira awamu ku lw’obulungi bwa famiire kubanga bbo tebamulinako buzibu.  

Namwandu Nnalongo Deborah Nakawombe Nyanzi yeebazizza Katonda amuyambye okulaba ng'olumbe lwa bba lwabizibwa era nategeza nga bwasonyi abaana be bonna ababadde balulemesa nabasaba okutambulira awamu ne bannabwe nga kitaabwe bweyayagala era bafube okukuuma ekitiibwa kye n’omukululo gwe yaleka. 

Mawejje ku lwa banne abawakanya eky’okwabiza olumbe e Namugongo yategeezezza nti si bamativu na nsala ya mulamuzi wabula olw'okubeera nti mu nsala ye teyabawadde budde bumala ku nteekateeka kujulira kwabwe basazeewo okuleka olumbe okugenda mu maaso kyokka nga baakusigala nga bawakanya engeri eby’obugagga by’omugenzi okuli n’essomero gye biddukanyizibwamu. 

Yagambye nnyaabwe Nakowombe avunaanyizibwa okulaba nga batambulira wamu ng’abaana wabula yalazze oludda bweyakulembeddemu abaana be okugulira bannabwe abazaalibwa e Mutundwe okubegattako okwabiza olumbe e Namagoma.  

Mawejje alumirizza baganda be okukozesa olukujjukujju ne bajja ssente ku akawunti y'omugenzi ne bazikikozesa nga tebamwebuzizzaako ng'omu ku bavunaanyizibwa ku mmaali y'omugenzi.  

Ssaalongo Nyanzi yafa mu August wa 2019, ng'okuva lwe yafa wabaddewo okusika omuguwa mu ffamire ku kifo awalina okubeera olumbe.