Kkanisa y'Abadiventi ewaddeyo oluwalo lwa bukadde 10 e Mmengo

EKKANISA y’Abadiventi mu Uganda ekiise e Mmengo neetwalayo oluwalo lwa nsimbi obukadde 10 okudduukirira mu nkola y’emirimu gy’Obwakabaka.

Katikkiro ng'akyazizza abagenyi
By Dickson Kulumba
Journalists @New Vision

EKKANISA y’Abadiventi mu Uganda ekiise e Mmengo neetwalayo oluwalo lwa nsimbi obukadde 10 okudduukirira mu nkola y’emirimu gy’Obwakabaka.

Ssabalabirizi w’ekkanisa eno mu Uganda, Dr. Moses Maka Ndimukika yakwasizza Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga ceeke eno n’agamba nti basiimu eri Kabaka olw’okumulonda okutambuza emirimu gy’Obwakabaka ekintu kyakoze obulungi wakati mu kusembeza abantu bonna awatali kusosola

“Okujja kwaffe wano,tuzze okwebaza Kabaka olw’okutukulondera naakutuwa. Okulembedde Obwakabaka buno mu kiseera ekitali kyangu mu byenfuna,wali wakajja wateekawo enteekateeka y’ettofaali era ebibala ebyavaamu tubiraba. Okulemberedde mu kiseera ekitali kyangu eky’omutimbagano n’ebyempuliziganya ebizibu naye twagala okwebaza nti osigadde oli ku mulamwa,” Dr.Maka bwagambye.

Katikkiro ng'alaga ekirabo ekimuweereddwa

Katikkiro ng'alaga ekirabo ekimuweereddwa

Ono atuuse e Bulange ku ssaawa ttaano n’eddakiika 20 era neebanirizibwa Omukubiriza w’olukiiko lwa Buganda olukulu,Patrick Mugumbule ne Baminisita abawerako era natwalibwa butereevu mu ofiisi ya Katikkiro era nevumba akafubo akeetabiddwamu ne Bp Samuel Kajoba atwala Abadiventi mu masekkati ga Uganda ate ne Frank Kiggundu,omuwanika w’ekanisa mu Uganda.

Bagenze mu kisenge kya kabineeti awabadde okwogera era wano, Dr Maka wakwasiriza Mayiga ekimuwereddwa ekanisa ng’emwebaza olw’obuwereeza eri Obwakabaka nga Kamalabyonna kati emyaka 10 ate ne Katikkiro n'amutonera ebirabo okuli ebikopo,ekkalamu n'ebirala ebiriko obubonero bw'Obwakabaka.

Mayiga asinzidde wano n’akubiriza enzikkiriza zonna mu ggwanga okukolagana n’Obwakabaka okutumbula obuwangwa nga batwala obwo obukwatagana n’enjigiriza yaabwe naddala okutumbula emirimu gy’ebika gigende mu maaso.

Ssabalabirizi Dr. Maka yalondebwa nga 31 August 2022 ng’adda mu bigere bya Pr. Dr.Daniel Matte era nga buno bwebwabadde obugenyi bwe obusoose okukyalira ku Katikkiro wa Buganda bukyanga akwasibwa buvunanyizibwa buno.

Dr. Maka awerekeddwako eyaliko Ssabalabirizi w'ekanisa eno mu ggwanga Pr. Dr John Kakembo, Omulabirizi Wa West Buganda Pr. Godfrey Lubwama, PR Samuel Kajoba, Pr. David Ssemwogerere,North Buganda field Bishop, Frank Kiggundu Omuwanika w'ekanisa y'Abaseveniside mu Uganda n'abalala.

Ye Katikkiro abadde  n'Omukubiriza w'olukiiko lwa Buganda Patrick Luwaga Mugumbule, Minisita Avunanyizibwa ku Lukiiko Noah Kiyimba, Isreal Kazibwe Minisita ow'amawulire era Omwogezi w'obwakabaka wamu ne Cotlida Nakate Minisita w'enkulakulana y'abantu.