Amawulire

Kitalo! Omuvubuka alumbye muganzi we ewaabwe gye yanobera n'amusalako obulago lwa kugaana kumuddira!

OMUVUBUKA akutte ekiso n’asalako muganzi we obulago n’amutta bwe yamukyaye n’asalawo okudda ewaabwe ate n’ajja okumwegayirira addeyo n’alema kwe kusalawo okumutta!

Kitalo! Omuvubuka alumbye muganzi we ewaabwe gye yanobera n'amusalako obulago lwa kugaana kumuddira!
By: Johnbosco Mulyowa, Journalist @New Vision

OMUVUBUKA akutte ekiso n’asalako muganzi we obulago n’amutta bwe yamukyaye n’asalawo okudda ewaabwe ate n’ajja okumwegayirira addeyo n’alema kwe kusalawo okumutta!

 

Ettemu lino lyabadde ku kyalo Lwankonim B e Lwenkanja mu ggombolola y’e Lwankoni mu disitulikiti y’e Kyotera, omuvubuka amanyiddwa nga Yimaamu nga kigambibwa nti yavudde Isingiro gy’abadde abeera n’omuwala, Mariam Namujju 28 era nga babadde balina n’abaana babiri.

 

Kigambibwa nti Yimaamu ono yali alabirira nte mu faamu wa Ssentebe w’ekyalo kino, John Ziriddamu mu myaka egyemabega we yayagalira omuwala ono ku kyalo kino n’asalawo okuva ku kyalo kino okuddayo ewaabwe era n’agenda n’omuvubuka ono.

 

Oluvannyuma lw’ebbanga Namujju yasazeewo okunoba n’adda ku kyalo ewa kitaawe, Edward Mutesaasira ng’agamba nti omuvubuka ono yabadde amubonyaabonya mu bufumbo gy’abadde yagenda era nga yasazeewo okunoba n’okumwesonyiwa.

 

Oluvannyuma Namujju yatandise okukola obwa yaaya mu maka g’omutuuze omulala awo ku kyalo ,Kyokka nga babadde bali awo omuvubuka ono Yimaamu n’ajja n’asaba Namujju amuwe omwana we omuto gwe yabadde yanoba naye bw’aba si mwetegefu kudda mu bufumbo gyeyanoba.

 

Kigambibwa nti Namujju yakkiriza n’amuwa omwana we n’amutwaala , nga yalowoozezza nti oba oli awo Namujju anaamugoberera olwokuba yatutte omwana we kyokka Namujju teyakikoze.

 

Enkeera, Yimaamu yakomyeewo ku kyalo n’alumba Namujju mu maka we yabadde akola n’amulagira okudda mu bufumbo kyokka ne yeerema. Nannyini maka yabatutte ewa ssentebe w’ekyalo agonjoole ensonga zaabwe kyokka tebaamusanzeewo.

 

Kigambibwa nti baabadde bakyakubira Ssentebe John Ziriddamu essimu okujja, Yimaamu n’asowola ekiso okuva mu gamubutusi n’akisogga Namujju mu bulago n’amukuttula omumiro, bwe yalabye afudde ne yeeyokya ensiko. Abatuuze baagezezzaako okumugoba kyokka ne balemererwa.

 

Ssentebe w’ekyalo kino John Ziriddamu yategeezezza Bukedde nti ekikangabwa kino nga famire kyabasusseeko olwomuntu okuttirwa wakati mu luggya lwe.

 

Omwogezi wa poliisi e Masaka Twaha Kasirye yakakasizza ettemu lino era n’ategeeza nga poliisi bweri mu kunoonya omuvubuka ono eyakoze ettemu .

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Tags:
Amawulire
Kusala
Bulago
Kulumba
Muganzi