OMUYIMBI Mansour Ssemanda amanyiddwa nga King Saha eyavuganyako ku kya Pulezidenti w’ekibiina kya UMA ‘Uganda Musicians Association’ avuddeyo n’asaba abayimbi, bannakatemba n’abantu bonna abalumirirwa ekisaawe ky’abayiiya okumwegattako batambule bagenda ku palamenti ya Uganda okwanja n’okubanja etteeka lyabwe ku biyiiye liyite ‘The Copyright and Neighbouring Rights (Amendment) Bill erikyalemeddeyo n’okumanya lwaki teriyisibwa.
Bobi Wine yoomu ku balwanirira etteeka ly'abayimbi
King Saha ategeezezza nti etteeka lino lijja kubayamba okulya ku ntuuyo zaabwe n’okubawonya okusabiriza ng’ate ennyimba zaabwe, emizannyo n’ebiyiiye ebirala bikola wadde essaawa eno waliwo abantu bangi ababiryamu olw’obutabaawo tteeka lubakugira.
Etteeka lino likolebwako omubaka wa Mawokota North mu Palamenti era omuyimbi, Hillary Kiyaga amanyikiddwa nga ‘Dr. Hilderman’. Bwe liyisibwa ne lijja kuyamba okuwa abayiiya obwannannyini n’okukuuma ebintu by’abayiiya, abayimbi, bannakatemba n’ababifulumya nga ne bw’aba afudde abaana baabwe basigala babifunamu.
Omubaka Kiyaga bwe yali afuna oluwummula okugenda okukola ku tteeka lino, yategeeza ng’etteeka eririwo eryakolebwa mu 2016 bwe litabayambye ng’era abayiiya, abayimbi ne bannakatemba bangi tebaganyuddwa mu ntuuyo zaabwe nga gye biggweera badda mu kusabiriza.
King Saha asabye abayimbi okuva mu kwetuulako balwanirire ekintu kyabwe kubanga guno gwe mulimu mwe bajja ekyokulya kyokka ssinga babizannyiramu, boolekedde okubonaabona n’okuleka abantu abatalina kye bagatta ku myuziki okusigala nga bamufunamu ng’ate bbo beerya nkuta.
Ashraf Semogerere ne John Ssegawa bannakatemba
Wiiki ewedde, Pulezidenti w’ekibiina kya NUP, Robert Kyagulanyi ‘ Bobi Wine’ bwe yabadde mu kuziika Kato Lubwama e Nkozi, yasabye abayimbi okuzuukuka beegatte ku mubaka Kiyaga, omuyimbi era munnamateeka Silver Kyagulanyi, John Ssegawa ne Bujjingo owa Mizigo Express abazze bagoberera n’okukola ku tteeka lino okulaba engeri gye bateeka Gavumenti ku nninga okulifulumya, bamanye omugaso n’amaanyi gaabwe basobole okukyusa obulamu bw’abayiiya bave mu kulinda ssente za Gavumenti ze yagambye nti zigenda kubasibira mu bwavu n’okubafuula abaddu olw’obukwakkulizo obuzibeerako.
Kyokka ebigambo bino tebyasanyusa abamu ku bayimbi ne bamulumba nga bagamba nti yeenoonyeza bibye engeri gyali mu byobufuzi n’okwagala okubasubya omudidi. Bino we bijjidde nga Gavumenti eteekatteeka okuwa abayimbi obuwumbi 32 ng’eyita mu kibiina kyabwe ekya Uganda National Musicians Association ekikulirwa Eddy Kenzo abamu ze bagamba nti tezigasa bayimbi bonna.
Ne munnakatemba John Ssegawa yavaayo ku National Theatre nga bakungubagira Kato Lubwama n’asaba abayimbi okwesonyiwa ssente za Gavumenti ze yayita ez’obwereere balwanirire ebyabwe omuli n’etteeka ly’abayiiya erijja okubayamba okusigala nga balya mu ntuuyo zaabwe emirembe n’emirembe.