Ebyemizannyo

KCCA ne Prisons buli omu awera kusesemya munne kikopo kya liigi ya kubaka sizoni eno

OKUMALA ebbanga lya myezi 7 nga ttiimu 12 mu liigi y’okubaka ey’oku ntikko zituuyana bwe zikala okufuna kyampiyoni wa sizoni eno 2022/2023, leero Lwamukaaga (April 29, 2023) ye nsalessale w’okufuna omuwanguzi.

KCCA ne Prisons buli omu awera kusesemya munne kikopo kya liigi ya kubaka sizoni eno
By: Gerald Kikulwe, Journalist @New Vision

Leero mu liigi y’okubaka

Busia Greater Lions – Mutelex Life Sport

UPDF – African Renewal University

UCU Angels – Police

Makindye Weyonje – NIC

KCCA – Prisons

OKUMALA ebbanga lya myezi 7 nga ttiimu 12 mu liigi y’okubaka ey’oku ntikko zituuyana bwe zikala okufuna kyampiyoni wa sizoni eno 2022/2023, leero Lwamukaaga (April 29, 2023) ye nsalessale w’okufuna omuwanguzi.

Sizoni eno yatandika nga September 24, 2022 nga yali esuubirwa okukomekkerezebwa nga March 25, 2023, wabula mu January 2023, akakiiko akategesi kaagiyimiriza okunala omwezi gumu n’ekitundu olw’ensonga ezitalengererwawo mu kusooka, yaddamu okuzannyibwa nga March 15, 2023 okutuusa leero lw’ekomekkerezebwa.

Ensiike 5 ze ziggalawo sizoni nga buli ttiimu ezannye ensiike 21 wabula abawagizi basinze kwesunga ensiike esalawo kyampiyoni wa sizoni eno wakati wa KCCA abakulembedde liigi n’obubonero 37 nga battunka ne Prisons bwe batalima kambugu abali mu kyokubiri n’obubonero 36.

Christine Namulumba Kango Owa Prisons N'omupiira

Christine Namulumba Kango Owa Prisons N'omupiira

Wano we wali okulya n’okukomba essuwaani, KCCA yawangula ensiike eyasooka ku bugoba (48-45), kati mu kudding’ana KCCA eyagala kubadda mu biwundu okuwangula ekikopo kyabwe ekisooka mu byafaayo, ate Prisons eyagala kwesasuza okuwangula ekikopo ekyokubiri mu byafaayo.

Prisons egenda kwesigama nnyo ku mutindo gwa ssiniya waabwe ate kapiteeni Lilian Ajio, Tausi Mumena, Sylivia Florence Nannyonga, Stella Nanfuka, Viola Asingo mu kisenge olw’obumanyirivu bwe balina wamu ne Christine Namulumba Kango omuteebi waabwe, Marisera Akello ne Joyce Nakibuule wakati.

Namulumba y’akulembedde abateebi ne ggoolo 762, Zam Sera owa NIC alina (686), Asiinah Kabendela owa Makindye Weyonje (624), Cinderella Charity owa Busia (559) n’abalala. Bano bonna balwanira kirabo kya muteebi asinze sizoni eno wabula leero lwe lunaku lw’okusala omusango.

KCCA erina ennyonta y’ekikopo nnyingi, bajja mu nsiike ya leero nga bali ku ffoomu nnungi, baakwesigama nnyo ku Hanisha Muhameed Nakate, Christine Nakitto ne Shaffie Nalwanja mu kisenge, wakati balinawo Norah Lunkuse ne Annet Najjuka ate abateebi; Irene Eyaru kapiteeni ne Shadia Nassanga Sseggujja.

Irene Eyaru Kapiteeni Wa Kcca N'omupiira

Irene Eyaru Kapiteeni Wa Kcca N'omupiira

Ttiimu bwe ziyimiridde

KCCA – (37)

Prisons – (36)

NIC – (34)

Makindye Weyonje – (29)

UCU Angels – (25)

Police – (22)

UPDF – (16)

Busia Greater Lions – (12)

Africa Renewal – (11)

Mutlex Life Sport – (4)

Posta – (2)

Ugx. Luweero – (yavaamu n’obubonero 4)

Tags: