KCCA esonjodde ettaka e Buyala kw’egenda okuyiwa kasasiro

KCCA esonjodde obuguzi bw’ettaka ly’e Buyala erisangibwa ku luguudo lw‘e Mityana,  kwe yatandika edda okuyiwa kasasiro, dayirekita wa Kampala Hajjat Sharifah Buseki n’alangirira nti, ekibuga kigenda kunyirira

Dayirekita wa Kampala, Hajjat Sharifah Buzeki ng’akwasa abadde nnannyini ttaka David Luwagga endagaano gye baakoze okusonjola obuguzi.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

KCCA esonjodde obuguzi bw’ettaka ly’e Buyala erisangibwa ku luguudo lw‘e Mityana,  kwe yatandika edda okuyiwa kasasiro, dayirekita wa Kampala Hajjat Sharifah Buseki n’alangirira nti, ekibuga kigenda kunyirira.

Obuguzi bwawedde ku Lwokutaano lwa wiiki ewedde, KCCA bwe yakoze endagaano esasula nnannyini ttaka, David Luwaga ensimbi akawumbi kamun’obukadde 600 nga buli yiika baagiguze obukadde 70 nga yaguze yiika 230.
Eno y’ebadde entikko y’okusika omuguwa okubaddewo ku taka lino, abakulira ekitongole ekikuuma obutonde bw’ensi ekya NEMA n’ekitongole ky’ebibira  ekya NFA bwe byavaayo ne bisooka biwakanya obwannannyini  bw’ettaka lino n’okuliyiwako
kasasiro. Ebitongole bya Gavumenti byonna byatudd  ne bikkiriziganya nti, ettaka
KCCA erigule teririiko muziziko gwonna.
Mu lukiiko olwatudde ku City   Hall ku Lwokutaano, lwabaddemu bannamateeka bannannyini ttaka David Luwagga naboabaatadde emikono ku ndagaano.
 Oludda lwa KCCA lwabaddemu, akulira ebyamateeka, Frank  Rusa Nyakaana, omumyuka wa dayirekita Benon Kigenyi, yinginiya Justus Akankwasa, Doreen
Tiberondwa, Dr. Sarah Zalwango ne Richard Waryomu.
Hajjat Sharifah Buzeki yalangiridde  nti, bagenda kutereeza  ekifo bakizimbe mu nkola
ey’omulembe okwawukana ne Kiteezi nga kasasiro bamukolame bintu eby’enjawulo.
Yagambye nti, n’abatuuze abaliraanyeewo baakuganyulw uba bagenda kufuna emirimu
n’okubakolera enguudo, amataala ekifo kikyuke. Yalagidde ku  mmotoka ezitambuza kasasiro okumubikka aleme kugenda ng’ayiikayiika mu batuuze era nti, ekifo kya Bannakampala tasuubira bibuga birala kutwalayo kasasiro. Yasiimye baminisita ba
Kampala; Hajjati Minsa Kabanda, Kabuye Kyofatogabye, abakoze  ennyo okulaba nti, obuguzi babusonjola. Pulezidenti Museveni yawa KCCA ssente ezigula ettaka  okugenda okuyiibwa kasasiro oluvannyuma lwa Kiteezi okuyiikamu n’etta abantu ate ne  gye yali eddukidde nga e Katikkolo e Mukono, e Nkumba, n’e  Menvu yonna ne bagigobayo