KATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye abantu ba Buganda okwettanira okwefunira ekkula ly'obufumbo kubanga bunyweza n'okukuuma Ekitiibwa Kya Buganda.
Mayiga agamba nti obufumbo buno bwebubeera bukoleddwa bwakuyamba okuzzaawo Ekitiibwa Kya Buganda ekiyimbibwako mu luyimba Ekitiibwa kya Buganda nti kyaavadda.

Godfrey Lubega ne Florence Naluyange nga bagattibbwa e Lubaga
Bino abyogeredde mu Lutikko e Lubaga abafumbo Godfrey Lubega ne Florence Naluyange abe Busujju lwebagatiddwa mu bufumbo Obutukuvu n'agamba nti abafumbo nga bano abalina omwoyo gwa Buganda ogutafa beetaaga okuwagirwa mu buli kimu.
Katikkiro Mayiga era asabye abagole bano nga bakuza abaana okubayigiriza Kalonda yenna akwata ku Bwakabaka, ebika n'ensi yaabwe babimanye.

Godfrey Lubega ne Florence Naluyange nga bamaze okukuba ebirayiro e Lubaga
Abagole bano bagattiddwa Fr. Nicholas Mulumba okuva e Busega ng'asabye abenganda, enikwano gyaabwe obutayingirira nnyo bufumbo bwaabwe, bamanye webalina okukoma busobole okuwangaala.
Abagole bano bakubye ebirayiro n'okwesuubiza okukumagana nga beenanika empeta.
Omukolo gwetabiddwako Minisita w'enkulakulana y'abantu ba Buganda, Choltilda Nakate Kikomeko n'abalala bangi