Katikkiro Charles Peter Mayiga anenyezza Abaganda abamu, abanyomerera eby’obuwangwa bwabwe, nebadda mukukitiza n’eby’Abazungu byebalabye obukulu. Y’agambye nti kiswaza nnyo Omuganda okumala obudde bwe ng’anyumiza banne eby’obuwangwa bw’Abazungu, ssonga ebibye eby’awano talina n’ekimu ky’amanyi.
Y’asabye abantu ba Ssabasajja bonna okufaayo okuyiga ennono n’obuwangwa bwabwe. Y’anokoddeyo omukolo ogw’okwabya olumbe gweyagambye nti gwamugaso nnyo. Y’ategeezezza nti okwabya olumbe kitegeeza kukomya kukaaba, n’akwongera mumaaso bulamu, oluvannyuma lw’abantu okufiirwa omwagalwa waabwe
“Waliwo bannaffe abamu abasalawo okwezunguwaza, nebeekola obuntuntu, ssonga ssibazungu. Okubeera ow’omulembe tekitegeza kukyawa byabuwangwa nannono. Osanga omuddugavu owakuno ng’anyumya ebya Kkwiini wa Bungereza sso nga ebikwata ku Kabaka we tabimanyi,” Katikkiro bweyeewunyizza.
Katikkiro Mayiga y’abadde mukwabya olumbe lw’omugenzi Dokita Edward Kigonya, mu maka g’omugenzi e Lumuli, Kitende, mu disitulikiti y’e Wakiso.
Y’asiimye omugenzi Kigonya, n’ategeeza nti wadde yali musawo omukugu, eyasoma ennyo, teyanyomerera byabuwangwa bwe, era nga y’ayagala nnyo Kabaka n’Obwakabaka, ate ggwe wamma n’ekikakye ekye Mamba. Omugenzi era y’amusiimye olw’empisa ennungi zeyayolesa mu bulamu bwe, omuli ekisa, okwagala abantu n’okubalumirirwa, ate n’okubatabaganya.
Bweyabadde ayigiriza mu mmisa, Viika Genero w;essaza ekulu erya Kampala, Munsennyooli Chales Kasibante naye y’asiimye omugenzi Dokita Kigonya olw’okwagala eddiini ye Katolika, Obuganda, ate ne Uganda.
Cot 8
Dokita Edward Kigonya yafa mu mwala gwa 2020. Yali musawo wattutumu, ng’alina obukugu mukujjanjaba ensigo. Y’akulirako Eddwaliro ekkulu ery’e Mulago, are nga yeyatandika eddwaliro ery’obwannannyini erya Nile Clinic. Teyakoma kukujjanjaba bantu kyokka, wabula y’atendeka abasawo bangi,
Dr. Kigonya y’asikiddwa mutabani we Simon Kiyaga Kigonya.
Kumukolo guno gwegumu waliwo n’ennyimbe endala ezayabiziddwa, okwabadde olwa Dokita Peter Martin Nsubuga, olwa Edward Mutebi, olwa Maria Nambogo (y’asikiddwa Conie Namukasa), olwa Elizabeth Mbebaza (y’asikiddwa Annet Nansubuga), olwa John Bosco Mulinde (y’asikiddwa Brendon Mutebi), olwa Fredrick Ssempeebwa (y’asikiddwa Tony Kigonya), n’olwa Charles Mulinde (y’asikiddwa Solomon Kigonya).
Cot 9
Omukolo gwetabiddwako abanene abalala bangi, omwabadde eyaliko minista w’eby’ensimbi, Hon. Maria Kiwanuka, Ow’ekitiibwa Rhoda Kalema, n’Ow’ekitiibwa Robert Wagwa Nsibirwa ng’ono y’eyagogedde ku lwa famire y’Owekitiibwa Martin Luther Nsibirwa eyali Katikkiro wa Buganda, ngono y’eyali azaala omugenzi Dokita Rosemary Nakasi Nsibirwa, ayali mukyala w’omugenzi Dokita Edward Kigonya