KATIKKIRO wa Buganda Owek. Charles Peter Mayiga akuutidde bazzukulu ba Buganda okudda ku nnono kubanga ly’ekkubo lyokka eriggya okuzza n’okukuumira Buganda ku ntikko.
Bino bibadde mu bubaka bw’atisse omukubiriza w’olukiiko lwa Buganda Owek. Patrick Luwaga Mugumbule mu mukolo kwebatongolezza ekibiina kya ‘’EbikaByaffe Foundation’’ mwebagenda okuyita okukola emirimu egy’enjawulo egikulaakulanya Buganda nga omukolo guno gwabadde ku Hotel Africana mu Kampala nga gwetabiddwa n’eyaliko omumyuka w’omukulembeze w’eggwanga Edward Kiwanuka Ssekandi.
Owek. Mugumbule ategezezza nti kiikwasa ennaku okuba nga abantu ba Buganda bangi tebamanyi nnono zaabwe nga n’abamu batuuka n’okuziyita eza sitaani olw’endowooza z’abazungu.
Okutongozaa Bikabyaffe Foundation
Ategeezezza nti oluvannyuma lwa Katikkiro Mayiga okwekeneenya ebigendererwa n’ebiruubirirwa by’ekibiina kino yategeezezza nga kino bwekijja okuyamba Obuganda bwonna awamu era nga tekizze kunafuya kibiina kyonna bw’atyo n’asaba okuwagira entekateeka z’ekibiina kino.
Mugumbule yategeezezza nga ekibiina kino bwebakisuubira okubeerako ettofaali eddene lyekiteeka ku nkulaakuklana ya Buganda kubanga Mugenda kubeeramu ebintu bingi ddala omuli n’okusomesa abaana ebikwata ku nnono n’ebika byabwe nga kw’otadde n’okuzimba amasomero agagenda okubayambako okubawa eby’enjigiriza eby’enjawulo.
Kyokka Owek. Mugumbule yasanyukidde nnyo eky’abamu ku baana abamanyi obulungi ennono zaabwe nga banmanyi n’okuddamu obulungi ebibuuzo ebibeera bibabuuzibwa n’ategeeza nga bano bwebawa ennyo essuubi ery’okukwatira Buganda omumuli mu biseera ebyomumaaso.
Akuutidde bazzukulu ba Buganda bonna okunywereza abaana ku nnono kubanga buli lwebaginywererako ebibatataaganya byonna bamala nebabiwangula.
Omukubiriza w’olukiiko lw’abataka , Omutaka Namwama Augustine Kizito Mutumba yategeezezza nga amawanga g’abazungu bwegagezezaako okudibaga abaddugavu n’ategeeza nga bwetutalina kwekubagiza kubanga Katonda yatutonda mu kifaananyi kye.
Namwama era akuutidde bajajja b’ebika okukimanya nti ebika byabwe naye bateekeddwa kubibeeramu Mirembe nga bali wamu ne bazzukulu baabwe n’asaba okwongera okubizimba.
Yasiimye nnyo emirimu egigenda okukolebwa ekibiina kino kubanga mirungi gya byankulaakulana.
Blasio Mutanda omuyima w’ekibiina kino yasabye bannakibiina okukwataganira awamu okutwala ekibiina kino mu maaso.
Zambaali Blasio Mukasa nga memba mu kibiina kino yalaze ebiruubirirwa byabwe mu kibiina kino n’asaba bazzukulu ba Buganda bonna okukola kyebasobola okutwala ekibiina kino mu maaso.
Oluvannyuma Omutaka Edward Fuuke yawaddeyo ettaka yiika bbiri bazimbeko essomero nga om uku kawefube ow’okukulakulanya Buganda.