KATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye ebibiina by’Obwakabaka eby’obwegassi okukola ennyo bikulakulane bituuke n’okuwa abantu naddala abavubuka emirimu,okugoba obwaavu.
Mayiga agamba nti ebibiina bino birina okubeera entabiro y’obuyiiya bw’emirimu okuyamba Kabaka okugonjoola ekizibu ky’emirimu naddala mu bavubuka.
Okusaba kuno akukoledde ku kitebe ky’ekibiina ki CBS Pewosa Sacco ekisangibwa ku luguudo Kabakanjagala e Mmengo ku lwokusatu nga April 16, 2025 n’agamba nti wadde mu kiseera kino bakozesa abakozi 60,ayagala mu bbanga ttono nga balina abakozi 600.
“Muwe abakozi emirimu,muwe abantu emirimu era nsanzeewo wano abava e Nkole,Busoga ekyo kirungi. Ffe Buganda tetudda mu buntukatoole obwo anti ate,Buganda awo yavaawo,” Mayiga bwayogedde.
Ayongeddeko nti “Waliwo omuntu eyajja n’angamba nti nsanze mu Bulange ng’abantu si Baganda kati ate. Nemugamba nti awo twavaawo dda ebyo twabirekera bali bali, bakyali mweebyo,ffe tuli ggwanga kkulu (Nation),tulina okubeera n’Abasoga,Abanyankole n’abagishu n’abalala. Muwe abantu nga musinzira ku busobozi bwaabwe.”

Katikkiro Mayiga
Ku mukolo guno,Mayiga asisinkanye ebibiina by’obwegassi ebirala okuli Buladde Financial Services,Essuubiryo Zambogo Sacco, Kyadondo Pewosa Sacco,Busiro Pewosa Sacco mu nkola ye ey’okulambula ebitongole by’Obwakabaka.
Minisita w’ebyobulimi,obwegassi n’obusuubuzi mu Buganda, Hajj Amisi Kakomo ategezezza nga bwebalina abantu abakunukiriza mu 80,000 mu bibiina bino eby’obwegassi bwatyo neeyebaza obukulembeze bwaabyo olw’okubitambuza obulungi kyebiva bikulakulanye.
Daniel Ssentumbwe nga y’akulira emirimu mu CBS Pewosa yategezezza nga mu myaka 10 gyebakamala bwebasobodde okukola obugagga ng’ekifo webali wawerawo yiika nga yaabwe ate ye Rashid Musisi Ssemanda nga y’akulira bboodi ekulira ekitavu kino yategezezza nga bwebalina ensimbi ezisukka obuwumbi 20 n’abantu abasukka 20,000 abatereka ensimbi ezakyeyagalire.
Omukolo gwetabiddwako ab’enjawulo John Kitenda nga y’akulira bboodi ya Buladde,Kawooya Mwebe akulira olukiiko olufuga Kyadondo Pewosa Sacco, Joseph Blaikuddembe Ssenkusu akulira olwa Essuubiryo Zambogo Sacco n’abalala.
Omwaka oguwedde Katikkiro Mayiga yatandika enkola y’okulambula ebitongole by’Obwakabaka era werutuukidde leero,alambudde ebiwerako okumanya bwebitambuzibwa n’abakozi baabyo.