Amawulire

Poliisi etaddewo ennamba ez'obwereere abantu kwe banaakuba nga baagala obuyambi mu nnaku enkulu

POLIISI etaddewo ennamba z'amasimu, abantu kwe banaayita okuloopa abo oba ebintu bye bateekakasa , naddala mu kiseera kino, nga tuyingira mu nnaku enkulu.

Poliisi etaddewo ennamba ez'obwereere abantu kwe banaakuba nga baagala obuyambi mu nnaku enkulu
By: Musasi Bukedde, Journalists @New Vision

POLIISI etaddewo ennamba z'amasimu, abantu kwe banaayita okuloopa abo oba ebintu bye bateekakasa , naddala mu kiseera kino, nga tuyingira mu nnaku enkulu.

Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Kituuma Rusoke, annyonnyodde nti emu ku nnamba zino, esooka, si yaakusasulira nga ssinga wabaawo alina obuzibu, waddembe okugikubako ne bamuyamba.

Alabudde abantu okwewala okuzikozesa obubi nga babuzaabuza abaserikale , n'atiisa okubakwata bavunaanibwe .

Ku zino, kuliko  0800 199 699, ey’obwereere  oba 0707600773 ne 0776999136. waliwo n'ey’omuliro eri 0800 121 222

Tags:
Amawulire
Poliisi
Kukuba
Ssimu
Buyambi
Nnamba