Mu kaweefube w’okulongoosa omulimu gwa bayinginiya n’okukendeeza obubenje bw’ebizimbe ebigwa nga bizimbibwa kabineeti erangiridde nga bw’egenda okukola ennongoosereza mu tteeka erifuga bayinginiya erya Engineering Act (1969).
Bino byayogeddwa Gen. Katumba Wamala minisita avunaanyizibwa ku by’enguudo n’entambula mu ggwanga ku mukolo ogw’okujaguza olunaku lw’Abayinginya olw’ensi yonna ku Hotel Africana.

Katumba Wamala Ne Denis Hamson Obua Mu Kukuza Olunaku Lw’abayinginiya Ku Hotel Africana.
Gen. Katumba yategeezezza nti etteeka eririwo terituukagana na mulembe guliwo olw’ebintu ebizze bikyukakyuka mu by’obuzimbi.Yagambye nti ennongosereza mu tteeka lino kabineeti z’eyagala okuleeta zaakuyamba okumalawo n’okukendeeza ku bantu abalimbika mu ky’okubeera bayinginiya kye batali abeenyigira mu mirimu gyabwe.
“Ekigendererwa ky’ennongosereza zino kyakumalawo bantu abayita bayinginiya abakugu abatamanyiddwa mu mateeka abeerimbika mu mulimu guno naddala abayigira obuzimbi ku sayiti” Gen.Katumba bwe yategeezezza.
Ye minisita omubeezi ow’ebyenguudo n’entambula Musa Ewceru yategeezezza nti kino gavumenti ekikola okugezaako okutereeza omulimu guno n’okumalawo abantu abeeyita bayinginiya kye batali okuli ne bapoota abakola ogw’okuweerezza omusenyu ne bbulooka.
Andrew Muhwezi, pulezidenti w’ekibiina omwegattira bayinginiya ekya Uganda Insitute of Professional Engineers yennyamidde olw’omuwendo gwa bayinginiya abakyala ogukyali omutono.
Omumyuka wa sipiika wa palamenti, Thomas Tayebwa mu bubaka bwe obwamusomeddwa Nnampala wa NRM Hamison Obua yalaze okwennyamira olw’abantu abakola emirimu mu ngeri evumaganya ekitiibwa ky’obwayinginiya.
Yagambye nti mu kumalawo okusoomoozebwa kuno palamenti egenda kuyisa amateeka amapya kyokka nga kino kyakukolebwa oluvannyuma lw’okwebuuza ku bitongole n’abantu bonna abakwatibwa.
Kino we kijjidde nga buli mwaka wabeerawo ebizimbe ebiggwa n’ebitta n’okulumya abantu mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo.