KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II asiimye emikolo gya matikkira ge ag’emyaka 30 gikuzibwe mu Lubiri e Mmengo mu ssaza ly’e Kyadondo nga July 31,2023.
Kabaka era yasiimye gigyaguzibwe wansi w’omulamwa ogugamba nti “Tuwagire Ebika byaffe. Tunyweze Nnamulondo' okujjukira omulimu omunene ogwakolebwa Abataka mu kukuuma Obwakabaka mu kiseera we bwaggyibwawo ate n’okuzzibwawo kw’abwo nga July 31,1993.
Minisita Daudi Mpanga ng'ayogera.
Ku Lwokuna June 8, 2023, omumyuka asooka owa Katikkiro wa Buganda era minisita w'obuyiiya ne tekinologiya, Polof. Twaha Kigongo Kaawaase yatongoza olukiiko olugenda okutegeka entujjo eno nga lukulemberwa minisita w'ensonga z'enkizo mu Buganda, David FK Mpanga ng'amyukibwa David Kyewalabye Male nga ye minisita w'obuwangwa n'ennono.
“Omukolo gwa matikkira gwa nkizo mu Buganda era ng'Obwakabaka bwasazeewo okujjukirirako omulimu omunene ogwakolebwa Abataka nga buwereddwa.
Okwagala Obwakabaka bwaffe kituli mu musaayi, ye nsonga lwaki ffenna tulina okusitukiramu ku kijaguzo kino,”Polof. Kaawaase bwe yayogedde.
Omumyuka asooka owa Katikkiro wa Buganda, Polof. Twaha Kaawaase (ow'okusatu okuva ku ddyo mu maaso) ng'ali mu kifaananyi n'abakungu abali ku lukiiko olugenda okutegeka omukolo gwa matikkira ga Kabaka ag'omulundi ogwa 30 nga July 31,2023.
Bammemba abalala kuliko Minisita w'Amawulire Noah Kiyimba, Minisita Omubeezi ow'ebyobulimi Hajji Amisi Kakomo, Josephine Nantege Ssemanda omuwandiisi, Kaggo Hajj Ahmed Magandaazi Matovu, Abakungu David Ntege, Joseph Mugagga, ne Remmie Kisakye. Capt. Edward Ssempijja ne Capt. Lutwama kwebali ku lukiiko luno ku luuyi lw'ebyokwerinda.
Ye ssentebe w'Olukiiko luno minisita Mpanga yakkirizza obuvunaanyizibwa ku lwa banne era n'akubiriza abantu ba Buganda okwenyigira mu nteekateeka eno kubanga nnamulondo ekuumibwa okuviira ddala ku muntu asooka.
Polof. Kaawaase (ow'okusatu ku ddyo mu maaso) ng'akulisa Minisita Daudi Mpanga eyalondeddwa nga Ssentebe w'olukiiko olugenda okutegeka omukolo.
Yasiimye Kabaka olw'omulamwa gwabawadde omwaka guno. Hajjoi Magandaazi yeebazizza Kabaka olw’okusiima emikolo gino gisigale mu Kyadondo. Okuva 2020 emikolo gya Kabaka gizze gikolebwa mu Lubiri e Mmengo oluvannyuma lw’okubalukawo kw’ekirwadde kya ssenyiga omukambwe.
Kabaka Muwenda Mutebi II yatikkirwa nga July 31,1993 e Naggalabi oluvannyuma lw’emyaka 27 nga buggyiddwawo nga mu kino ebyafaayo byaddamu okweddingana Ssekabaka Kimera bwe yazza engoma ya Buganda oluvannyuma lw’emyaka 27 ng’Obuganda tebulina Kabaka oluvannyuma lwa Ssekabaka Chwa I Nabakka okuggya omukono mu ngabo.