KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II alagidde abantu be ababeera e Bulaaya okunyiikirira okwezimba mu byenfuna beekulaakulanye.
Bino byabadde mu bubaka bwe yatisse Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga mu kuggulawo Ttabamiruka ow'omulundi ogwokubiri ow'abantu be ababeera e Bulaaya owa Buganda Bumu European Convention (BBECO) mu kibuga Berlin ekya Girimaani ku Lwomukaaga.
Ttabamiruka ono yabadde wansi w'omulamwa ogugamba nti, “Okukuuma ennono n’okwekulaakulanya ku mawanga”. Omulamwa guno Kabaka yagusiimye n'agamba nti, gusaanye okubajjukiza obuvunaanyizibwa bw'okwekulaakulanya ng’abantu ssekinnoomu ate n'okuzimba Obwakabaka bwabwe.
"Temusobola kweyagalira ku mawanga nga temwezimbye. Noolwekyo, mubeeko eby’enkulaakulana bye mukola nga bassekinnomu, oba bye mukolera awamu, kibaweese ekitiibwa eyo gye mubeera," Kabaka bwe yasabye mu ttabamiruka eyakomekerezeddwa ku Ssande.
Kabaka Mutebi era yajjukizza abantu be bano okuteekawo enkola eng’enderere ebasobozesa okuwuliziganya n'abantu baabwe saako abakulembeze b'Obwakabaka basobole okugoberera byonna ebikolebwa.
Ku Lwokutaano, Mayiga yakyala ku kitebe kya Uganda e Girimaani mu kibuga Berlin n’ayanirizibwa Ambasada Steven Mubiru enzaalwa y’e Kamuli mu Busoga. Mayiga yagambye nti, kikulu abantu ababeera e Bulaaya okusiga ensimbi mu bintu nga obutale bw’emigabo kuba eno bulimu ssente nnyingi okusinga e Kampala ate n’ebirala ebivaamu ssente.
KABAKA ASIIMYE EKITEBE KYA GIRIMAANI
Mayiga yatuusizza obubaka bwa Kabaka eri basajja be Ambasada Mubiru n'omumyuka we Ambasada Danny Ssozi olw'okumwanirizanga obulungi buli lw’agenda mu kitundu kino.
Ambasada Mubiru yeebazizza Obwakabaka ne Mayiga okutwalira awamu olw'okujjanjaba Kabaka okutuusa kati ng'ali mu mbeera esanyusa.
Mubiru yabuulidde Mayiga nga Girimaani bw’ekoze obuvumbuzi mu by’eddaggala n'obujjanjabi era baatandiseewo enkolagana okulaba ensi ebbiri bwe ziyinza okugabana obukugu buno.