BWENAWULIDDE amaziga n’okulaajana kwa Juliet Nakyanzi ekitongole kya NEMA gwe kyakonera ennyumba mu Lubigi ate naddukira mu Kiteezi kasasiro gye yabuutikidde abantu ne enyumba mwabadde asula ne nfa ennaku.
Bino bye bigambo by’o mugagga Hajji Hassan Bulwadda owa Bulwadda Estate e Kyanja ne Kigo eyavuddeyo okulaba nga asangula amaziga ga Nanyanzi alina abaana abataano mu kiseera kino asula mu weema nga bwe balinddirira KCCA okulaba oba enabaliyirira.
Nakyanzi yagambye nti bweyamenyerwa ennyumba ye mu Lubigi yaddukira e Kiteezi gye yali yazimba akayumba ke akalala nga kalimu omupangisa n'asalawo okumugobamu era n'akayingira ng’abadde abeerawo n’abaana be musanvu gattako abamugandawe munaana ne nnyina akadiye nga n’obulema mulema.
Mu kiseera kino Nakyanzi yafunye ne kirowoozo ky’okwewa obutwa amale abuwe n’abaana be bavve ku nsi kubanga alowooza nti katonda yabeerabira.
Kyokka Hajji Bulwadda bweyalabye okulajana kwe kwekusalawo okuvaayo amuwe poloti ne ntandikwa ku kyalo Nana mu ggombolola y’e Kigandwa – Busunju ku Lw’e Mityana gye yasooka okuwa abantu 150, poloti buli omu futi 50 ku 50 abagobwa ne Nanyanzi mu Lubigi e Nansana wadde yali yaggalawo okugaba ettaka