Gwe batutte mu ssabo okuzuula ababbye laptop bamukubye mizibu

Omukazi addukidde ku poliisi e Mukono n’agisaba emutaase ku musawo w’ekinnansi eyakubye mutabani we Allan Ssematimba (22) emiggo egyamumenye omugongo.

Ssematimba ng'ayambibwako munne okutambula nga bali mu ddwaliro e Mukono.
By Saul Wokulira
Journalists @New Vision
#Mukono

Deborah Nalwoga, omutuuze ku kyalo Butebe mu Mukono Central Division y’avunaana omusawo w’ekinnansi, Tonny Ssentongo ow’okutuusa obuvune ku mutabaniwe ng’asinziira mu ssabo lye eriri mu muzigo gw’apangisa ku kyalo Mulago nakyo ekiri mu kibuga ky’e Mukono.

Ssentongo yakwatiddwa ku Lwokuna n’aggalirwa ku poliisi e Mukono n’aggulwako omusango gw’okukuba omuntu oguli ku fayiro nnamba SD Ref: 68/06/07/2021.

Ssematimba asangiddwa ku ddwaliro lya Mukono General Hospital ng’egenze okufuna obujjanjabi oluvannyuma lw’okuba nga mu kiseera kino takyasobola na kutuula wadde okutambula olw’obulumi bw’agamba nti alina bwamaanyi mu mugongo, mu lubuto ne ku magulu.

Mkn Ssabo 3

Mkn Ssabo 3

Ssematimba gwe baakubidde mu ssabo ne bamumenya omugongo ng'ali mu ddwaliro alinda obujjanjabi.

Ono alumiriza nti waliwo mukwano gwe William Mukiibi gwe baali naye ne babba laptop ye n’amuteebereza okuba nga y’agibbye.

“Bwe nava ku mulimu n’agamba nti tugende waliwo omusawo akebera n’azuula ababbi, olw’okuba nnali mmanyi nti si yenze eyagibba, ne nzikiriza ne tugenda. Wabula olwatuuka ne tuyingira ne baggyako ettaaka olwo emiggo ne gitandika kuvugira ku nze nga bagamba nti bajjajja be bankuba,” bw’annonyola.

Ssematimba agattako nti” Olwagira omusawo n’ateekako ettaala n’ayongera okunkuba paka lwe nnalaba nga nfa bwe wabaawo aggulawo oluggi ne nneesimattula ne nziruka okutuuka ku dduuka ly’ow’eby’okwerinda ku kyalo, Geoffrey Lwanga ye yantaasizza.”

Mkn Ssabo 8

Mkn Ssabo 8

Ekifaananyi kya Ssentongo kye yatimba mu ssabo lye mw'akolera egy'okusawula.

Mu kiseera kino, Nalwoga agamba nti laptop eyabbibwa yazuliddwa n’omuntu omulala n’etwalibwa ku poliisi e Wantoni era ne nannyiniyo Mukiibi yadduse ku kyalo.

Ayagala poliisi emuyambe ekwate abeenyigidde mu kukuba mutabaniwe bonna basobole okumujanjaba.

Ow’eby’okwerinda Lwanga agamba nti Ssentongo yakamala ku kyalo kino emyezi nga mukaaga ng’era yasoose okukolerako ogw’okusawula ng’ate bawulira nti ne gye yava baagobayo mugobe nga yeenyigira mu bikolwa ebitategerekeka nga yeerimbise mu busawo obuganda.