Gwe bakwatidde mu bwenzi, ensonyi azifudde obusungu n’akwata ejjambiya n’atema bba: ‘‘Musajja ggwe lwaki onondoola!’’

OMUKAZI atawena gwe bakwatidde mu bwenzi, ensonyi azifudde obusungu n’akwata ejjambiya n’atema bba nga bwamulanga nti ‘‘Omusajja ggwe lwaki onondoola!’’

Kalyango ali mu ddwaaliro ajjanjabwa. Mu katono ye Katushabe.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision
#Mercy Katushabe Kiconco #Joseph Kalyango #Masaka #Kyotera

OMUKAZI atawena gwe bakwatidde mu bwenzi, ensonyi azifudde obusungu n’akwata ejjambiya n’atema bba nga bwamulanga nti ‘‘Musajja ggwe lwaki onondoola!’’

Mercy Katushabe Kiconco, 26, ow’e Kyamuyimbwa e Masaka y’atemye bba Joseph Kalyango 30 embale ng’entabwe yavudde ku Kalyango okusanga Kiconco lubona n’omusiguze ataategeerekese mannya kyokka Katushabe olw’obusungu n’abaka ejjambiya n’atemaatema Kalyango ng’amulanga okumububira ekisukkiridde.

Yamuyuzizza oluba n’okwagala okumukutulako obulago era bwatyo n’adduka n’amuleka ng’ataawa!

Kigambibwa nti Kalyango akolera omugagga omu e Bukunda mu ggombolola y’e Kirumba e Kyotera, aludde ng’afuna olugambo nti buli lw’abeera mu mmimiro Katushabe ayingiza abasajja abalala mu kazigo kaabwe ke babadde bapangisa e
Kyamuyimbwa ekyamuleetera okutandika okumuketta!

Kalyango olwabazinduukirizza omusiguze yamuyise mu nkwawa n’adduka olwo Kalyango n’asitula oluyombo ne Katushabe ekyaddiridde mukazi kubaka jjambiya n’amutemaatema kwagala kumutta n’oluvannyuma n’adduka!

Kalyango yayambiddwa owa bodaboda Wasswa Masiko eyamuddusizza mu ddwaaliro lya Gavumenti e Kaliisizo ng’omusaayi gumuggwaamu!

Akulira eddwaaliro lino, Dr. Emmanuel Sekyeru yategeezezza nti ye kennyini ye yakulembeddemu abasawo abakugu mu ddwaaliro lino okutwala Kalyango mu sweeta okumutunga.

Yagambye nti yayuziddwa nnyo emba zombi ne zaawukana, okumutema obulago kyokka ejjambiya teyamukutudde mumiro!

Ekyewuunyisa baabadde bali awo ne Katushabe eyamukozeeko ettemu n’atuuka mu ddwaaliro era yabuzeeko katono okugajambulwa abalwadde n’abajjanjabi mu ddwaaliro lino.

Ono baamuyitidde poliisi y’e Kaliisizo eyazze n’emu-kwata n’emuggalira ng’okunoonyeng’okunoonyereza bwe kugenda mu maaso.