Omukazi agambibwa okubba essimu ya Iphone ku musajja eyali amuguze okwesanyusaamu mu loogi agambye nti yakikola lwakuba ‘kaasitooma’ yagaana okwambala akapiira ka kalimpitawa, kyokka n’amukwanga 2,000/- zokka eza Uganfa, naye kwe kumwesasuza.

Omukazi avunaanibwa ogw'okubba essimu
Ono yabba essimu ekika kya Iphone 12 eyali ebalirirwamu obukadde 6 kyokka n’agitunda emitwalo 50 zokka eza Uganda era baamusanga mu bbaala nga yeesanyusa
Agambye nti omusajja yamuwa 2,000/- naye kwe kusalawo abbe essimu. Byaliwo nga September 26,2026 mu Balintuma zzooni e Lubaga.
Abadde mu kkooti ya city hall mu Kampala n’asaba bamusonyiwe kubanga alina omwana ate ali lubuto. Omulamuzi amulagidde akomewo nga October 15,2026 amusalire ekibonerezo.